Mukulize abaana Ku ddiini – Dr. Hafiz Muhammad Bukenya.
District Kadhi Wa Kayunga Dr. Hafiz Muhammad Haruna Bukenya akalatidde abazadde okkuliza abaana ku ddiini yabwe busiramu basobole okwesiima munsi nekunkomerero.
Bino bijide mukaseera nga abayizi bonna mu ggwanga bawumudde mulusoma lwa taamu esooka. Dr. Bukenya agambye nti abazadde basaanidde okukozesa omukisa guno okulagira abaana babwe byebalina okola omuli okusaala eswala ettano,okweyisa obulungi,okugondera bakadde babwe nempisa endala.
Hafiz Bukenya okwogera bino asinzidde Ku masjid Swidiq e Mengo Kisenyi Kalitunsi mu Kampala bwabadde akulembeddemu okusaaza swalah ya Jumah najjukiza abazadde obuvunanyizibwa bwebalina eri abaana babwe. Ono abasabye obutaleka baana kutayaaya kubyaalo kubanga emize mingi egiri mubantu nga nabwekityo abasabye okubakuumirako amaaso nokubalungamya munneyisa.
Dr. Bukenya nga ye Imaam omukulu owa Masjid Swidiki Mengo era akubirizza abazadde okwekeneenya ennyo amasomero gebasomesezamu abaana kubanga galina kubeera gaddiini okusobola okwagazisa abaana eddiini yabwe nokubakuliza kumpiisa nenono yeddiini yabwe. Hafiz Bukenya agambye okusinziira kukunonyereza kwebakoze bakizudde nga abazadde obutasomeseza baana mumasomero gaddiini kyekimu kubiviiriddeko abaana okusiiwuka empiisa.
Mungeri yemu Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya akalatidde abakozesa okusasula abakozi mubudde wamu nokubayisa obulungi kubanga bakubuuzibwa kubuvunanyizibwa eri bebakulembera.
Bya Ismail Tenywa