Politics

Mutwale abaana ku masomero ag’ediini-Umar Ddimba.

Abazadde bakubiriziddwa okusabira ennyo abaana babwe buli kiseera kubanga eduwa y’omuzadde eri omwana we ebeera nkulu nnyo. Abasabye n’okwekeneenya enyo gyebasomeseza abaana oba waliyo ediini kubanga ediini ky’ekisumuluzo ky’obuwanguzi.

Omulanga guno abazadde gubakubiddwa omuwanika w’ekitongole ky’ebigezo by’ediini mu gwanga kumutendera gwa Primary ekya Islamic Primary Examinations Board era omusomesa omukugu ow’okubala Ddimba Umar bwabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okusabira abayizi ba P.7 aba Lufuka Quality Islamic primary school e’Ndejje Mirimu zone nga lino lyettabi lya Lufuka Islamic Primary School abali muketerekerero k’okutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo ebya Primary Leaving Examinations okutandika nga 7 paka 9 ogw’ekuminogumu 2023 n’ebyediini ebya Islamic Primary Leaving Examinations mumakati g’omwezi ogwo.

Ddimba Umar nga y’omu kubatandisi ba Lufuka Schools agambye nti abazadde okwesulirayo ogwa naggamba kiretedde abana okutambula nga tebalina kusaasirwa n’emikisa munsi olwokubulwako duwa z’abakadde babwe.

Ssentebe wa IPLE mu Uganda era omu kuba Director ba Lufuka Schools Sheikh Amir Katudde asabye abayizi bano okwekiririzamu kubanga ebigezo ebigenda okolebwa sibipya bisoboka singa batambulira wamu ne Allah. Abuuliridde abayizi bonna mu gwanga obutetantala kukopa bigezo kubanga kino kyakabenje nnyo.

Ayongedde okujjukiza bananyini masomero okunnyikiza enkola ya E – Learning gyeyatongoza gyebuvuddeko okuyamba kubayizi okusoma kubasomesa abali emitala wamayanja nemumasomero amalala agamaanyi mu ggwanga kubanga kati etambula bulungi era technology siwakudda mabega nga tutekeddwa okumwaniriza.

Omukolo guno gwetabiddwako omukulu w’ettwale lya makindye saabagabo era Ssabawandiisi wa IPLE sheik Ismail Kazibwe, Hajji Sulaiman Ssejengo eyaliko Mayor wa Ndejje Division,omu kuba Director ba Ibun Hamis Islamic SS Matuga Sheik Siraje Kasirye nabalala.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *