Mwagazise abaana ediini yabwe busiramu-Imam Kasozi.
Ku Kinawa High School Kawempe bolesezza eby’obusiramu.
Omutunuulizi w’ensonga ezenjawulo mu ggwanga era omu kubatandisi b’ekitongole kya Islamic Center For Education and Research Imam Iddi Kasozi asabye abaana abakyaali mu masomero okola emikwano egyanamaddala ejinabagasa mubiseera ebyomumaaso.
Imam Kasozi okwogera bino asinzidde kusomero lya Kinawa High School Kawempe campus kumukolo abayizi b’essomero lino kwebolesereza ebitone by’obulamu ebyenjawulo kulunaku lwebatuumye Islamic Cultural Day okusobola okubeera eky’okulabirako mu bitundu byabwe omuli okusoma Quran,okwolesa emisono gy’enyambala y’obusiramu naddala abaana abawala,okusoma Khutuba,ebitontome by’eddini nebilala.
Imam Kasozi asabye abasiramu okwagala enyo enono z’obusiramu mumpisa,enyambala,enjogera, empangaala nebirala. Avumiridde bonna abasuulawo empisa z’obusiramu nebakola ebyabwe. Ono era asiimye nnyo abatandisi ba Kinawa High Schools ettabi lya Kawempe olw’okusosowaza empisa n’amateeka g’eddini.
Omukulu w’esomero lya Kinawa High School Kawempe Campus Hajji Serugo Muhammad Ali agambye nti ekilubirirwa ky’olunaku luno olutuumiddwa Islamic cultural day kwekwongera okutumbula ensa mubaana wamu n’okwongera okubajjukiza enono omusiramu kwalina okutambulira nga bwebagasa n’ebitundu byebawangaliramu.
Agambye nti batunulidde nnyo kungeri abaana bano gyebawangalamu nabantu abalala nga babakwasisa empisa, okubayigiriza engeri omusiramu gyayambalamu nebilala.
Bya Ismail Tenywa.