Mwanirize ensoma eyokumitimbagano- Sheikh Amir Katudde.
Basabidde abayizi ba Lufuka Islamic abagenda mu bigezo.
Ssentebe w’ekitongole Ky’ebigezo by’eddini kumutendera gwa pulayimale ekya Islamic Primary Leaving Examinations Board Sheik Amir Katudde asabye bananyinni masomero g’obusiramu okwaniriza enkola ya E-Learning gyeyatongoza gyebuvuddeko,ey’okusomera kumitimbagano nga beyambisa ebyuuma bikalimagezi okwongera kumutindo gwebisomesebwa n’okukyiyigiriza abayizi okubeera abayiiya era abanonyereza. Agambye nti enkola eno ejakwongera okuwewula nekubudde abasomesa bwebamala nga basomesa abayizi.
Sheik Katudde okwogera bino asinzidde kusomero lya Lufuka Islamic day and boarding primary school e Ndejje Lufuka mugombolola ye Makindye saabagabo mu district ye Wakiso bwabadde omugenyi omukulu kumukolo gw’okusabira abayizi b’ekibiina eky’omusanvu abawerera ddala 183,abagenda okukola ebigezo byabwe ebya P.L.E ne I.P.L.E omwezi ogw’ekumi n’ogumu nga ennaku zomwezi 8 ne 9. Ate eby’oluwalabu nga 16 ne 17.
Eduwa eno ekulembeddwamu ssabawandiisi w’ekitongole kya I.P.L.E kukitebe ky’obusiramu ekya Uganda Muslim Supreme Council era omukulu w’ettwale lya Makindye Ssabagabo Sheik Ismail Kazibwe akalatidde abagenda okutuula ebigezo byonna okwesigamira Allah, okukuuma empisa,okubeera abawulize era abagumikiriza basobole okutuuka kubuwanguzi.
Omukulu w’esomero lya Lufuka Islamic Primary school Ssabasomesa Hajji Umar Ddimba agambye nti bateeseteese bulungi abayizi babwe nga kumyaka ejisoba mu 30 gyebamaze munsiike y’okusomesa Allah akyabasaasidde tebasuulanga kumwana yenna era balina esuubi nti nab’omwaka guno bajja kukukola bulungi. Asabye abayizi okusigala nga bampisa n’okulembeza Allah mubuli nsonga. Asabye abazadde okubeera abulungi mubisera by’oluwumula bayigirize abaana emirimu okusinga okubaleka okutayaaya.
Kumukolo gwegumu abayizi bavuganyiza mumpaka z’okusoma Quran wakati wa Lufuka Islamic primary school, Iqra Islamic primary school Buddo n’esomero lya Bright Grammar primary school era empaka zigenze okukomekerezebwa nga abayizi ba Lufuka Islamic primary school bebawangudde banabwe.
Bya Ismail Tenywa