Politics

Omubaka Mpuuga alidde matereke ne ssabaminisita Nabbanja mu Palamenti.

Ssabaminisita Robinah Nabbanja alidde matereke n’akulira oludda oluwabula gavumenti kubiwamba bantu wamu naabo abazze babuzibwawo, Mpuuga akakasizza olutuula lwa palamenti nga Sabaminisita Robinah Nabbanja amanyi amayitire aga munna kibiina kya NUP Godfrey Kibalama, Nabbanja kyatakiriganyiza nakyo.

Mu kiwandiiko ky’aboludda oluwabula gavumenti eri palamenti ekibadde kirindiriddwa mu lutuula luno akulira oludda oluwabula gavumenti Mathias Mpuuga kyasomye kyolese nga bwe batakiriziganya nakiwandiiko kyaleetebwa minisita omubeezi owa ensonga z’omunda mu ggwanga David Muhoozi kweebyo ebyaliwo ku kisaawe nga pulezidenti w’ekibiina kya NUP akwatibwa gyebuvuddeko kko nebwegwali nga abantu baabwe bakwatibwa mu kusaba kwebategeka e’Kamwokya.

Mpuuga era ayogedde ku banna Uganda naddala aba ekibiina kya NUP abazze bakwatibwa era nasoma olukalala lwa manya gaabwe.

Amukukunyizza ku ky’okukuumira abasibe mu makkomera awatali kutwalibwa mu kooti nga wayiseewo esaawa ezisuka 24 ekiraga okutyoboola eddembe ly’obuntu erisukiridde, nga nabamu batereddwako emisango egiremereddwa okulaga obujjulizi.

Mpuuga agamba akisinga okwenyamiza palamenti yafuuka kyesirikidde nga binno bigenda mu maaso.

Ekiwandiiko kyolese okutulugunyizibwa mu makomera nga Samuel Masereka ne Kakwenza abazze balaga nga bwebaatulugunyizibwa nabalala nga omubaka Zaake kyokka byonna byakoma awo.

Mpuuga era ayogeddeko ku kutulugunya abantu okwenjawulo ku nyanja wadde nga palamenti yayisa eteeka.

Banno kati balina byebabasabye gavumenti nga kuliko gavumenti ereete amayitire ku bantu abaakwatibwa mu kwekalakasa kwa November wa 2010 mu Kampala nemuriraano, okulaga abasiraamu abazze bakwatibwa nga tebateebwanga, okuyimbula abasibe abali makomera abasibibwa ensonga z’ebyobufuzi, wamu naabo abakwatibwa ku nsonga z’ebyobuvubi.

Kyokka omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa agamba takiriziganya nabigenda byogerwa nga palamenti bwetakoze kimala kukutulugunya nokutyoboola eddembe ly’obuntu ebigenda maaso era nasoma ebiteeso eby’enjawulo ebizze bikubaganyizibwako ebirowoozo mu palamenti, wabula erina wekoma mu nsonga zino.

Ababaka abenjawulo babadde bagala ekiwandiiko kino kitwalibwe mu kakiiko akalondoola ensonga z’eddembe ly’obuntu mu ggwanga kasobole okutunuulira ensonga zino mu bujjuvu.

Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga David Muhoozi agambye nti ebyogeddwako Mpuuga ebisinga byadibwamu dda wadde kuyinza okuba tekwamatiza, nga waliwo ebikyali mu kooti naye gavumenti ekiririza mu kufugibwa okwamateeka.

Kyokka embeera ekyongedde okutabula Mpuuga bwalumirizza Ssabaminisita Robinah Nabbanja okuba nga amanyi amayitire nga Godfrey Kibalama owa NUP nga era omusaayi gwe guli ku mikono gye, kino kitabudde Ssaabaminisita Nabbanja nabuuza Mpuuga oba nga yali amulabyeko nga akwata abantu bonna wakati nga Sipiika amuwooyawooya.

Olumazze binno Aboludda oluwabula gavumenti nebafuluma olutuula lwa palamenti era bwebasisinkanye bannamawulire nebawera obutaddamu okutuusa nga bafunye okudibwamu ku satimenti eyaleetebwa Minisita Muhoozi ku bibuuzo byeboolese olwaleero.

Oluvannyuma amyuka Sipiika awadde minisita Muhoozi amagezi basisinkane nakulira oludda oluwabula gavumenti Mpuuga bekeneenye ensonga zino nokwekeneenya ankalala zaabo abagambibwa okuba nga babuzibwaawo biretebwe.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *