Politics

Obukadde obusoba mu 34 bwebusondeddwa ababaka aba opposition okukomyawo abaana abakyalemedde ebweru.

Aboludda oluwabula gavumenti baliko obukadde obusoba mw’asatu mubuna(34M) bwebakunganyiza okuva mu babaka ba palamenti ab’oludda oluwabula gavumenti okusobola okukomyawo banna Uganda abakonkomalidde muggwanga lya United Arab Emirates, abaali bagenze okukuba ekyeyo.

Bano ngabakulembeddwamu akulira oludda oluwabula gavumenti Mathias Mpuuga Nsamba mulukungaana lwabanamawulire olutuziddwa ku palamenti agambye newankubadde nga waliwo abaana abakomezeddwawo mu bibinja ebyenjawulo, bakizudde nti atte banna Uganda banji abakyakonkomaliddeyo mumawanga gabuwalabu olwebula ly’ensimbi ezibazza nga yensonga lwaki babakanye nedimu elyokunoonya ensimbi zino.

Ssabawandiisi wekibiina Kya NUP David Lewis Rubongoya bwabadde akwasibwa ensimbi zino ategeezezza nti Omulimu gwebaliko simwangu ddala kuba banna Uganda bangi abeetaaga ensimbi okukomawo ewaka era bwatyo neyebaza abo bonna abatodde kyebalina nabawaayo olwo mulimu guno.

Rubongoya nga akwasibwa ensimbi

Ate Minister wekisikirize ow’ensonga zebweru eranga ye mubaka wa Kyadondo east mulukiiko lw’egwanga olukulu Muwadda Nkunyinji awakanyiza ebigambo bya gavumenti byetegezezza nti emaze okuzza ekibinja ekisembayo ekyabaana abaali bakonkomalidde mu mawanga gabawalabu ng’era Omulimu guno gukoleddwa gavumenti yawano wamu negavumenti yeggwanga kya United Arab Emirates.

Minister omubeezi owensonga zekikula kyabantu Charles Engola bwabadde ayogerako eri banamawulire ku Uganda media center mukampala ategezeza nga gavumenti bwekozze kyamanyi mukujja abaana ebweru wegwanga Muwadda kyawakanya.

Kati mu lukungaana lwabanamawulire lwakubye ku palamenti olunaku olwaleero,Muwadda agamba gano gabadde maanyi ga opposition.

Muwada bwavudde awo nalumba ekibiina ekigatta ebitongole ebitwala abantu ebweru ekya Uganda Association of external recruitment Agencies(UAERA) wamu ne minisitule yekikula kyabantu obutakola kimala kulwanirira ddembe lyabaana abali kukyeyo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *