Obumenyi bwamateeka bukendedde enaku zino.
Police evuddeyo nekakasa nga obumenyi bwamateeka bwebukendedde naddala mubiseera bino eby’olukuungana lwa NAM.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga bwabadde mulukungana lwbannamawulire ku kitebe Kya police e Naguru ategezezza nti ebyokwerinda binyweevu nnyo naddala kunguudo ezakoleddwa ekiletedde obumenyi bwamateeka okukendeera mu Kampala nebitundu ebiliranyeewo.
Ono era asabye bannayuganda okukolaganira wamu ne police mukaseera kano okusobola okulaba nga bakuuma obutebenkevu mu ggwanga.
Mungeri yemu ekitongole ki CID, police ne flying squad basobodde okukwata abami 2 okuli Kitisang Martin ne Namureng Joshua nga bano beekusa kuttemu lyeyali District Health Officer owa Masindi Dr Abiriga ngono yatibwa nga 7-01-2024 .
Enanga ategezezza nti basobodde okukizuula nti abami bano bakolagana nemukyala womugenzi Cherutiki Betty nebaloka olukwe olutta olwami ngalumiriza nti kyava kumwami kubeera nga yeyaviraako okufa kwabaana baabwe.
Enanga ategezezza nti abakwate bagenda kugulwaako gwa butemu.
Bya Bulyaba Hamidah