Politics

Sipiika Among asisinkanye amyuka omukulembeze wa Vietnam.

Omukubiriza w’olukiiko lwe ggwanga olukulu Rt. Hon. Anita Annet Among awanjagidde gavumenti ya Vietnam okwongera okussaawo enkologana ssinziggu wakati wa gavumenti yaakuno neya Vietnam kiyambeko kunkulakulana nobuyambi munsi yonna.

Mu nsisinkano Speaker Among gyabaddemu nomumyuka w’omukulembeze we ggwanga lya Vetinum ku palamenti VO THI ANH XUAN ngerimu ku kkubo ery’okuyitamu okussaawo obwa sseruganda wakati w’amawanga g’ombiriri.

Abakulembeze bombi balaze nga we waliwo obwetaavu obwamanyi okutondawo enkolagana wakati waabwe newankubadde bano essira bagamba lisaanye kussibwa ku bintu nga okutumbula obutale bwe byamaguzi byamawanga gombi, ebyenjigilriza, ebyobulimi kko nebirala ebigasa amawanga gombi.

Speaker Among asinzidde munsisinkano eno nasaba vice president wa Vietnam okussaawo enkologana eyenjawulo mumawanga gombiriri,okusakira uganda akatale muggwanga lya Vietnam, okwongera okwewagirangana mubintu ebyenjawulo nokwongera okuwa zisikaala abayizi bakuno muggwanga lya Vietnam.

Ye amyuka pulezidenti wa vetinum VO THI ANH XUAN mumbera eno yeeyamye okussa mu nkola okusaba kwa Sipiika wa palamenti ngazeeyo kubutaka era naye nasaba enkologana eno ebeera mumawanga gombiriri kigayambeko okukulakulana mungeri ezenjawulo.

Oluvanyuma lwensisinkano eno Sipiika wa Palamenti alambuzza omumyuka w’omukulembeze weggwanga lya Vietnam ne team ye Palamenti nokumunnyonyola Palamenti yaakuno bwetambuzaamu emirimu gyayo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *