Ogwomubaka Ssegirinya Muhammad kkooti egugobye
Kkooti ya Buganda road egobye omusango ogw’okukuma omuliiro mu bantu ogubadde guvunanibwa omubaka wa Kawempe North mu palamenti Muhammad Ssegiriinya.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda road Glades Kamasanyu olunaku lwa leero agobye omusango oguludde nga guvunanibwa omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya ogw’okukuuma omuliiro mu bantu.
Omusango guno okusinziira ku oludda oluwaabi yaguzza mu 2021 ku miniprice nga kigambibwa nti Ssegiriinya yali akuma omuliiro mu bantu nga akute ebipande nga bwalagira okuyimbula bannakibiina kya NUP okuli Eddy Mutwe, Nubian lee ne James Mubiru nga kwotadde n’okusaba obuwanguzi bwa presidentiwe Robert Kyagulanyi Ssentamu oluvanyuma lw’okulonda kwa 2021.
Omulamuzi okugoba omusango guno kidiridde oludda oluwaabi okulemererwa okuwa obujjulizi obuluma Ssegiriinya.
Oluvanyuma lwa kkooti twogeddeko n’abantu abenjawulo okubadde omubaka wa Kampala omukyala era munnamateeka mu NUP Shamim Malende, ssabawandiisi w’ekibiina kya Louise Lubongoya nabalala nga basanyufu olw’ensala eno.