Omubaka Muwanga Kivumbi awakanyizza ebya minister Amongi ku bya Nssf.
OMULIRO MUKAKIIKO K’EBYENSIMBI
Wabaluseewo obutakaanya mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyensimbi oluvanyuma lwa minister w’ebyensimbi kuludda oluwabula gavumenti Muwanga Kivumbi okwekandagga akakiiko ng’awakanya minisita ow’ekikula ky’abantu Betty Amongi okusemba ebigambo by’akulira ekittavvu ky’abakozi ekya Nssf ebibadde ebyokusuuta n’okwewaana ngabwekitambula obulungi kyawakanyizza.
Kivumbi mubbaluwa gyabadde akutte agilaze akakiiko ng’alumiriza Minisita Amongi nti yagiwandiikira NSSF ngayemulugunya engeri ekittavvu gyekitambuzaamu emirimu gyaakyo eyekiboggwe nalaga n’okwerarikirira nti ensimbi yomukozi eyinza okubeera ngetudde kweyokya bwatyo nasaba ssentebbe wakakiiko Kano Keefa Kiwanuka okukiriza bayitte mubaluwa eno, ssentebe kyagaanye nga agamba bakufuna olutuula olulala nga bbo bakikubaganyeko ebilowoozo, Kivumbi kyatakiriziganyiza nakyo nga agamba tayinza kutuula mukakiiko omuli ebyokulimba.
Kivumbi bwafulumye ayongedde okulumiriza minister ngagamba nti yeewunya okulabanga alya mululime nemuluzisse era asuubizza okulemera kunsonga paka nga waliwo ekikoleddwa.
Ye minister wekikula kyabantu Betty Amongi ebbaluwa eyogerwaako agyegaanye era nalumiriza Kivumbi okumusibako amatu gembuzi okumuliisa engo.
Patrick Ayota ng’ono yakulira ekitongole kyekittavvu kyabakozi (NSSF) ategeezezza nti buli kimu kitambula bulungi ng’era nensako egenze yeyongerako ekintu ekizaamu amaanyi.
Agambye ensimbi eziri mukitavvu kino ekya NSSF kuliko eza Uganda ebitundutundu 35% , Kenya 42%, Tanzania 22%, Rwanda 2% .
Ono era agamba ensimbi ezawamu mukitongole kino zeyongeddeko okuva mu mwaka gwebyensimbi ogwa 2018/2017 bwezaali obuwumbi 9 ngakati omwaka 2022/2023 wegitukidde ngabaweza trillion ezisoba mu 17.
Ono era agambye nti ensimbi ezitekerebwa bamemba zokka zeyongeddeko ebitundu 78% ngazensimbi obuwumbi obusoba mu 9 bwezaali mumwaka 2017/2018 ng’akati batereka ensimbi ezisoba mu buwumbi 17 .
Ssentebe wakakiiko kano Keefa kiwanuka ategeezezza nti ng’akakiiko bakusooka kwekeneenya ebbaluwa ebawereddwa omubaka Kivumbi okulaba oba ntuufu noluvanyuma baakulangirira ekiddako.
Bya Namagembe Joweria