Politics

Eby’obulambuzi n’enkulakulana byakwongezebwa ensimbi. Parliament.

Ababaka ku kakiiko ka palament ak’ebyembalirira bakkiriziganyizza n’ababaka ku kakiiko k’ebyobusuubuzi okuzzaawo ensimbi ezali zisaliddwa ku mbalirira eyassibwa ku by’obulambuzi n’ebyenkulaakulana.

Bino bizze omubaka wa Mbarara south Mwine Mpaka waabade abanjulira ebyo ebyayisiddwa mu mbalirira eyayisiddwa ku byobulambuzi eyomwaka gwebyensimbi 2023-2024 eyobuwumbi 89 nga agamba ntononyo tezimala.

Mpaka ategezezza nga mumwaka gwebyensimbi oguwedde, ekitongole kyebyobulambuzi kyaweebwa obuwumbi 195 wabula nga Kati zasaliddwa paka kubuwumbi 89 kyagambye nti kyandivilako emilimu obutakolebwa bulunji.

Mpaka ategezezza akakiiko nti embalirira ya Uganda tourism board ekendeezeddwa okuva ku buwumbi 26 n’obukadde 400 okutuuka ku buwumbi buna n’obukadde 300, embalirira ya Uganda wildlife Conservation Education centre ekendeezeddwa okuva ku buwumbi 9.5 okutuuka ku kawumbi kamu n’obukadde 900.

Mpaka ategezeza akakiiko nti ekitongole kino ekyobyobulambuzi yazuuliddwa emu kubitongole bya gavumenti ebikulu mukukyusa ebyenfuna n’asaba akakiiko kasale entotto okulabanga embalirila yaabwe tesalibwako

Omubaka wa Sheema south Mushemez Elija asabye ababaka bano okuzzaawo embalirila basobole okulaba engeri ekitongole kino gyekinakyusamu ebyenfuna bye ggwanga

Omubaka we mawogola Goret Namugga agambye nti ministry ye byensimbi yeerina okunenyezebwa kunsonga zinno kuba kino yekivunanyizibwako.

Omubaka wa kira municipality Ibrahim semujju Nganda ayagala okumanya lwaki wabaawo okusala ku mbalilira ye bitongole ekintu ekitataganya emirimu.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *