Politics

Omubaka Zaake atabudde akiiko kuby’akatambike.

Omubaka wa Mityana Municipality Francis Butebi Zaake, atabudde akakiiko bwagaanye okubaako kyayogera oba nga ddala ye yalabikira mu katambi akaalagibwa mu palamenti akagambibwa okuvvoola omubaka wa Rakai omukazi Juliet Suubi Kinyamataama.

Ng’ennaku z’omwezi kkuminabbiri (12/10/22 )omwezi oguwedde, omubaka Kinyamatama ng’asinziira mu palamenti yemulugunya ku mubaka Zaake okumuvoola bwe yali ku mukolo ogumu mu kitundu kye, era oluvanyuma lwakatambi okulagibwa mu palamenti omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa yalagira akakiiko ka palamenti akakwasisa empisa okulondoola ensonga zaabwe mu nnaku 45.

Ebimu ku bigambo ebyawulikika mu katambi mwalimu okuyita Kinyamatama nnamukadde, nalumansi, yesisa nga malaya n’ebirala.

Zaake ne Kinnyamatama bwe babadde balabiseeko mu kakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Bugweri County Abdu Katuntu okuwulira ensonga zaabwe, akatambi kasoose ne kazanyibwa era buli omu naweebwa omukisa okukakasa oba nga ddala keeko .

Omubaka Kinyamatama yakkirizza nti keeko kyokka bwe batuuse ku Zaake obwedda bamubuuza bwa mwenya akakiiko ne kasoberwa.

Munnamateeka we Erias Lukwago mu kugezaako okumuddiramu, yategeezezza akakiiko nti si buvunaanyizibwa bwa Zaake okuddamu ekibuuzo ekyo wabula amulumiriza gwe kikakatako okwanja obujulizi obumala nti ye ye.

Yasabye akatambi nekazannyibwa ogw’okubiri beetegerezze omuntu eyakalimu oba yali Zaake, kyokka n’oluvanyuma lw’okukaddamu era yeremye

Akatambi kano akakiiko kakakwasa Dr. Medad Ssentanda omukugu mululimi oluganda okuva e Makerere okukataputa mu lungereza eri ababaka ku ka kiiko abatategeera Luganda.

Omubaka Aisha Kabanda mukusoma ekiwandiiko, Lukwago yategeezezza nti omuntu gweboogerako si wuwe, ali mu katambi ayogera Kinyamatama ate eyataputa akatambi ayogera ku Nalumansi Kyamatama.

Munnamateeka wa Kinyamatama, Edgar Tabaro yatabukidde Lukwago ababuulire oba Zaake yafuna ekirwadde ky’okwerabira, oba asazeewo kugaana mu bugenderevu , Lukwago kye yasambazze era nategeeza akakiiko nti omuntu we ategeera bulungi ekyasesezza ababaka.

Katuntu yawaliriziddwa okwongerayo okuwulira ensonga zabwe okutuusa ennaku z’omwezi 21 omwezi guno era natuma omubaka kinyamatama okufuna abajulizi abaaliwo ku mukolo Zaake weyamuvvoolera..

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *