Politics

Gavumenti ya Uganda tesirika, eveeyo ku lutalo lwa Israel ne Palastine-Hajjat Aisha Kabanda

Omubaka omukyala owa Butambala Hajjati Aisha Kabanda akunze bannayuganda wamu ne babaka banne okumwegatako okuteeka emikono ku kiwandiiko kyaleta ekikwata kumukulembeze wa America Joe Biden ne gavumenti ye okukomya okuwayo ebyokulwanyisa ,nokuwagira obutujju mu lutalo olugenda mumaaso wakati w’amawanga abiri okuli erya Israel ne Palestine okusobola okumalawo okuttibwa kw’abantu abfiira obwemage mu bitundi bya Gaza.

Aisha kabanda agambye nti gavumenti yawano weba yefudde kyesirikidde kunsonga zino ye wakuleeta ekiwandiiko mu lukiiko lw’eggwanga olukulu ekinamala sabiiti bbiri
namba nga babaka banne
bakuteekako emikono ejenjawulo oluvanyuma
kitwalibwe ku kitebe kya
America wano mu ggwanga nga
balaga obutali bumativu eri
eggwanga lya America
kunsonga za lsrael ne
Palestine.

Omubaka bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku palamenti enkya ya leero

Ono alaze okunyolwa olwa gavumenti z’amawanga amalala nga ne Uganda kwojitadde okwesulirayo ogwanagamba obutabaako nekyebakola kunyamba ensi ezo ezirwanagana olwokuba batya okufiirwa obuyambi bwebabasuubiramu.

Olutalo olwogerwako lwatandika nga ennaku z’omwezi 7 omwezi ogwekumi omwaka guno aba Hamaazi bwebatta abantu abatalina musango abawereraddala omutwalo mulamba (10,000) mu ggwanga lwa Israel.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *