Omuyizi wa Ubbayi ayongedde okuwanika Uganda mumpaka za Quran e’Tanzania
Omuyizi muna Uganda Hafiz Abdul Karim Kabiito okuva kusomero lya Ubbayi Islamic Schools and Quran Memorization center e Bwebajja mu district ye Wakiso ayongedde okuteeka Uganda wagulu bwakomyewo mu Uganda okuva mu Dar es Salam muggwanga erya Tanzania gyeyakyikiridde Uganda mumpaka za Quran okuva munsi 22 nga eno yakute ekifo kyakubiri n’obubonero 98.60. Empaka zino “The Greatest Holy Quran Competition in Africa” omuyizi eyasinze mumpaka zino ezakomekerezeddwa e Dar es Salam zawanguddwa omuyizi okuva mu Ivory Coast nga yawangudde nobubonero 98.96.
Empaka zino zasaliddwa ba Hafiz ba Quran 10 okuva munsi ezenjawulo nga munna Uganda eyaweereddwa omukisa okusala empaka kumeeza yabalamuzi ye Dr. Hafiz Muhammad Haruna Bukenya wamu nabalala okuva e Kenya,Tanzania,Saudi Arabia,newalala. Abantu abasoba mumitwalo 90,000 bebetabye kumpaka zino.
Omugenyi omukulu kumukolo gwempaka za Quran guno yabadde President wa Zanzibar Hussein Ali Mwinyi. Era yamukwasiza cheque yabukadde 25,920,000/= eza Uganda.
President wa Zanzibar Dr Hussein Mwinyi akwasiza Award eri Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya Director wa Ubbayi Islamic schools omu kubabadde abalamuzi b’empaka zino nga esiima emirimo gy’okutumbula Quran ebbanga lyonna.Kinajukilwa nti Hafiz Abdul Karim Kabiito omwaka oguwedde yakwatira Uganda ekifo kya 11 mumpaka za Quran munsi yonna ezayindira e Dubai.
Twogeddeko ne Dr. Hafiz Muhamad Haruna Bukenya nanyini masomero ga Ubbayi Islamic school e Bombo ne Bwebajja nayozayoza omuyizi wabwe Hafiz Abdul Karim Kabiito olwokuteeka Uganda ku maapu nokuwanika esomero lyabwe kati emirundi ebiri nasaba abazadde okwongera okusomesa abana Quran nokumanya obukulu bwayo.
Ye omuyizi Kabiito twogeddeko naye nga yakakomawo okuva e Dar es Salam kukisawe entebe nalaga essanyu elyobuwanguzi nasiima abatwala esomero wamu nebazadde be abamuyambyeko mumbera eno nasaba abasiramu okwagala enyo ekitabo kya Allah kubanga kyamukisa.
Abamu kubetabye mumpaka zino kuliko Dr Maansaarawi omukugu wa Quran okuva e turkey,Dr. Salama Gomaa Daoud akulira Azhar Sharif University okuva E Misiri,Dr Adeel Said okuva e Saudi Arabia neba Ambassadors bamawanga amalala mu Tanzania ,Misiri,Algeria,Tunisia,Morocco,Lybia,Pakistan,Qatar,Turkey,Quwait newalala.
Bya Tenywa Ismail.