Politics

Open Space egamba wakyaliwo omuwaatwa kukufayo ku bavubuka.

Ekitongole ky’obwanakyewa ekyabavubuka ekya Open Space Center kitegese ensisinkano okubaganya ebirowozo kungeri abavubuka gyebayinza obutalekebwa mabega munsonga z’enkulakulana yeggwanga,ebyenjigiriza wamu nokutendekebwa mubintu ebitali bimu. Bano bakizuula ngabavubuka bangi tebalowozebwako mumbeera ezenjawulo ate nabo balina omugabo mugwanga lyabwe.

Ensisinkano eno ebadde ku Four Points by Sheraton e Kololo mu Kampala era yetabiddwamu abakulembeze babavubuka kumitendera egyenjawulo,abakungu okuva mu gavumenti,abakulembeze babavubuka abaliko obulemu,omubaka wabavubuka mugwanga Hon. Phiona Nyamutoro nabalala. Aba open space babadde nabekitongole ekiteekerateekera eggwanga ekya National planning authority okukinyonyola ebimu kubirowoozo byebagya mubavubuka okwetoloola eggwanga kubyebagala gavumenti ebakolereko.

Ensisinkano eno etuumiddwa National High Level Dialogue on National Development plan iv. Waliwo ekiwandiiko ekibagiddwa aba open space ekitumiddwa “youth policy paper on National Development plan iv “ekilaga emiwaatwa egyikyaliwo munkulakulana y’abavubuka nebirina okolebwa okulaba nga abavubuka tebalekebwa mabega munkulakulana yeggwanga.Bano bagamba nti n’abavuka basanga obuzibu mukufuna ensimbi z’abavubuka,emyooga neza Parish Development model ate abamu tebazifunirako ddala.

Omugenyi omukulu abadde minister wa w’ekikula kyabantu,abakozi nenkulakulana Hon Betty Amongi Ongom akyikiliddwa omubaka wa palamenti owa Nakawa Hon Ronald Nsubuga Balimwezo nga ono yeyamye okwanja ensonga zabavubuka mulukiiko olukulu olwegwanga zikokebweko mubwangu.

Ashiraf Sharaf Kakaire akwanaganya emirimu mu open space center agambye nti omuwendo gwabavubuka mungi wabula nga abatalina byakola ate nga tebali mumasomero bebangi nga betaga government ekirowozeko kubanga abavubuka abatalina byakola bakola ebikolwa ebikyamu omuli obubbi,okwekalakasa nebirala.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *