Palamenti egobye minisita Persis Namuganza
Palamenti ekawangamudde bw’esazeewo okujjamu obwesige Minister omubeezi owe’ttaka na’mayumba Persis Namuganza oluvannyuma lw’ababaka 348 okukuba akalulu akamugyamu obwesige.
Ababaka abetabye mukulonda babadde 356 ,abasembye agyibwamu obwesige babadde 348, abagaanyi 5, abatasazeewo wa webagwa babadde 3.
Bano okukuba akalulu kidilidde ssentebbe wakakiiko akatekebwawo ak’ekiseera Mwine Mpaka okusomera palament alipoota mw’ebyo byebazudde ku minister eranga obujulizi bwonna obuleteddwa mu palament okubadde n’obutambi bubadde buluma butelevu minister Namuganza.
Namuganza okujjibwamu obwesige kinajukirwa nti avunanibwa kyakuyisaamu palament ko n’okukozesa obubi yafesi ye bweyari akyaali minister webyettaka oluvanyuma lw’erinnya lye okulabikila mumivuyo egyaari gy’etobese mukugaba ettaka lye Nagulu-Nakawa ekyawaliriza amyuka Speaker wa palamenti okuteekawo akakiiko akekiseera okumunonyerezaako .
Bwabadde ayanjula alipoota eno Ssentebbe wakakiiko kano akatekebwawo akekiseera Mwine Mpaka ategezeza nga bwebaawa Namuganza ekyanya okugya okwewozaako mukakiiko eri ebyo ebimuvunanibwa wabula teyalabikako okugyako okusindika munamateekawe Norman Pande Wabula nga ono yagobebwa oluvanyuma lwobutaba nabimwogerwako ekyalowozesa akakiiko oba olyaawo ono mufere.
Olutuula lwa palament olwatandise ku saawa 4 ez’okumakya lubaddemu ebbugumu mukiseera nga ababaka bakikubaganyako ebirowoozo era bakira buli mubaka obwedda aweebwa omukisa okwogera nga asemba kyakugyamu Namuganza bwesige era wano speaker wa palamenti Thomas Tayebwa bwaggulidewo ekyaanya buli mubaka okukuba akalulu saako naabo ababadde kumukutu gwa zoom, era okukkakana nga ababaka abagyamu Namuganza obwesige bebasinze obunji olwo palament n’esalawo agyibwemu obwesige.
Amyuka Sipiika Thomas Tayebwa oluvannyuma lw’okulangirira ategeezeza nga bwagenda okuwandiikira pulezidenti ku bisaliddwawo Palamenti obutasukka Ssawa 24 nga amateeka agafuga entuula za Palamenti bwegalambika.
Bya Namagembe Joweria