Palamenti erabudde Bobi Wine ku by’agenda ayogera ku gavumenti ebweru w’eggwanga.
Palamenti erabudde omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu okukomya okwerimbika mu linnya lya gavumenti buli lwayagala okubaako ssente zafuna mu bantu ab’enjawulo naddala abawangaalira ebw’eru w’eggwanga.
Okukola okulabula kyaddiridde Kyagulanyi okusinziira ku mukutu gwa BBC ogumu mu Bungereza ku ntandikwa y’omwezi guno nategeeza nga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yaleeta etteeka erirwanyisa obufumbo /omukwano gw’ebikukuju era n’a babaka ku ludda oluvugannya bonna ne bamuwagira kubanga gwe bakolera.
Wabula kino ababaka bakisambazze , ne balabula Kyagulanyi nti bwaba anoonya ssente aleme kukozesa gavumenti kubanga etteeka lyaletebwa omubaka Asuman Basalirwa(Bugiri Munisipaali) era nerisembebwa kyenkana Palamenti yonna ku lw’obulungi bw’eggwanga.
Minisita w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga Chris Baryomunsi ateegezezza eggwanga nti terisaanye kutya kubanga tebayinza kutambulira ku ntoli za Amerika nga gavumenti kigikakatako okulaba nga eggwanga litebenkera mu by’empisa.
Eky’okubaziyizza obutaddamu kulinnya mu nsi yabwe agambye nti tekisobola kubatta, n’olwensonga eyo basaanye babeere bumu balwanyise empisa yonna eyinza okuviirako eggwanga okuzikirira.
Newankubadde okutiisibwatiisibwa wekuli, minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi n’ amakolero, David Bahati asabye bannayuganda baleme kwetiririra era nategeeza ababaka ku ludda oluvugannya abaasemba etteeka erirwanyisa ebisiyaga erya Anti-Homosexuality Act, 2023 bakimannye lunnye nti omukulembeze wabwe takyabetaaga kubanga kye yakoze kwabadde kubalyamu lukwe .
Wano Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among akinoganyizza nti empisa za wano tezitundwa n’olwensonga eyo si bakuvvunamira Amerika mu nsonga yonna era nti ye okumugana okugenda munsi ezo tekirina kyekiyinza kumujako
Okusinziira ku kiwandiiko ekya wandiikibwa omuwandiisi w’ekibiina kya JEEMA, hajji Muhamed Kateregga ng’ennaku z’omwezi 4 omwezi guno, akulembera ekibiina kino Basalirwa (eyaleeta ebbago) ayagala Kyagulanyi amenyewo ebigambo bye ya yogera kubanga bwali bulimba
Gubadde guwezze omwaka mulamba nga Kyagulanyi ayimiriziddwa obutaddamu kulinnya muggwanga lye bungereza ol’wennyimba ezzimu ezirwanyisa ebisiyaga ze yayimba n’okugaana okubaako kyayogera ku nsonga ezo.
Bya Namagembe Joweria