Politics

Supreme Mufti atenderezza emirimu gya Hajji Majab.

Supreme Mufti wa Uganda Sheik Muhammad Shaban Galabuzi atenderezza nnyo emirimu egyakolebwa Hajji Abdul Jabar Idirisa Mawanda eyali omusuubuzi omugundiivu mu ggwanga mukizimba n’okulakulanya obusiramu mu Uganda.

Supreme mufti asabye abasiramu okukola emirimu ejinabagasa mu maaso ga Allah nga Al-hajji Majab bwabadde akola nga obusiramu tabulyamubuli wabula nga yabutekamu n’okubukolera.

Supreme Mufti okwogera bino asinzidde mukusoma e duwa y’omugenzi eyali omusuubuzi omwatikirivu mu Wakiso eyamanyibwa enyo nga Hajji Majab, eno esomeddwa mumaka gomugenzi e Kisimbiri Wakiso.

Sheik Muhammad Galabuzi asabye abasiramu bonna okubeera obumu kunsonga y’ebintu by’obusiramu ebyagala okutwalibwa n’okuvumirira abo bonna abefunyiridde mukusanyawo eby’obugagga by’obusiramu.

Ono era asabye abagaba emali z’abagenzi okugoberera amateeka ga shariyah okwewala okutematema mu benganda.

Omukulu wa Dawa mu office ya supreme mufuti sheik Yasin Kiwewa asabye abasiramu okumanya obukulu bwa bama sheikh kubanga bakola omulimu munene mukulyowa emyoyo gy’abantu.

Abana b’omugenzi nga bakulembeddwamu Hajji Akram Katerega Majabu basiimye nnyo abababereddewo nebategeza nti bakusigala nga bakolerera obusiramu nga taata wabwe bwabadde akola okuyimirizawo obusiramu.

Abana ba Majab banyonyodde nti bakutongoza ekitabo ekiwandiikiddwa nga kikwata kubulamu bwa Hajji Majab n’emirimu Allah gyeyamusobozesa okola.

Omugenzi Hajji Abdul Jabari Edirisa Mawanda (Majabu) y’omu kubasajja abayagala ennyo obusiramu nga ayita mukizimba emizikiti mubitundu byegwanga ebyenjawulo,amasomero,okuwa abantu emirimu kumasundiro ge ag’amafuta okuli Majab ne Meru,nebilala bingi.

Akram Katerega Majab yalondeddwa ng’omusika azze mubigere bya hajji Abdul Jabari Idirisa Majabu

E duwa eno yetabiddwako abakulu bangi omuli akulira abakyala bonna mu Uganda hajjat Faridah Kibowa,omwogezi we kibuli Dr Muhammad Kigundu Musoke,omusuubuzi owamanyi e Wakiso Hajji Haruna Serunjogi owa SH Family hardware era nga y’omu kubakuza ba family y’omugenzi Hajji Majab,imam we Mulago sheik Yusuf Mutimba,hajji Muhamad Kibirige Mayanja,sheik katangawuzi nabalala bangi.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *