Local

Palamenti esiimye emirimu gy’abadde omulamuzi wa kooti ensukulumu Stella Arach Amoko

Palamenti esiimye emirimu gy’abadde omulamuzi wa kooti ensukulumu Stella Arach Amoko gyakoledde eggwanga nga ono yava mu bulamu bw’ensi ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde

Omubiri gwatuusiddwa ku palamenti ku ssaawa musanvu era negwayanirizibwa sipiika wa palamenti Anita Annet Among eyakulembeddemu ababaka abalala okwabadde ne namapala wa gavumenti Hamson Obua.

Ekiteeso ky’okumusiima omulamuzi Amoko kyaleteddwa katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja era nekissembebwa nampala w’oludda oluwabula gavumenti John Bapist Nambeshe eyakiikiridde akulira oludda oluwabula gavumenti Mathias Mpuuga.

Sipiika Among yategeezeza ng’omugenzi bw’abadde empagi eyamanyi mu kitongole eky’esiga eddamuzi nga abadde kyakulabirako, nga atuukirikika ate nga ku misango egimu awabula bannayuganda kyagamba nti tekiri ku balamuzi balala.

Yamwogeddeko nga abadde alina omukwano eri buli omu era nga abamubadde ku lusegere nga n’ekitiibwa ky’obulamuzi tebakimuyita ate nga naye tekimuyisa bubi.

Among yasabye omutonzi okugumya ffamire y’omugenzi, abantu be Nebbi, Adjuman ne ggwanga lyonna olw’okuviibwako omuntu atazzikawo.

Mu ngeri yemu yasabye omutonzi okuddiramu eggwanga bweyategezezza nti akooye okulaba abakulembeze ab’enkizo nga bafiira kumukumu era wano yasabye katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja anonyereze ku bbula ly’omusaayi okwetoloola eggwanga nakiki ekitekeddwa okulebwa okulaba nga bannayuganda tebafa olw’okubulwa omusaayi.

Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja yalaze nga Amoko bwaweerezza eggwanga n’omutima gwe gwonna era nga alese omukululo mu kitongole ky’abadde akolera nti kubanga alese atendese abawerako.

Yayongeddeko nti omugenzi akoleddeko mu bifo ebiwerako okuli kooti y’amawanga agasangibwa mu bugwanjuba bwa Africa (East African Court of Justice) abadde ssentebe wakakiiko k’ettendekero lya Uganda’s Law Development Centre n’ebirala.

Nambeshe yayogedde ku misango omugenzi mweyayatiikirira era nagamba nti omugenzi abadde mukazi eyemuludde mu mirimu gye gyazze akolera eggwanga.

Omulamuzi Aracha yegatta ku kooti enkulu mu mwaka gwa 1997 oluvanyuma nakuzibwa kubwomulamuzi omukulu mu mwaka gwa 2010.

Arach yagoba omusago gwa munna NRM Francis Babu bweyali awakanya obuwanguzi bwa loodi meeya Erias Lukwago mu mwaka gwa 2006.

Yayatiikira nnyo mu misango gy’obululu okuli ogwa Robert Kyagulanyi Ssentamu bweyali awakanya obuwanguzi bw’omukulembeze w’eggwanga Yoweeri Kaguta Museveni mu 2021 n’emirala mingi

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *