PALAMENTI ETABUKIDDE UNRA
Lwaki mulwawo okusasula abantu bemusengula
Palamenti eraze obweralikirivu ku ngeri ekitongole ekivunanyizibwa okukola enguudo ekya UNRA ne ministule y’ebyentambula gye bakandalirizaamu okusasula n’okuliyirira abatuuze abali ku
ttaka ewagenda okuyita enguudo ekintu kyebagamba nti kikontana ne ssemateeka.
Omubaka akiikirira abantu b’eNakaseke central Allan Mayanja Ssebunya yasoose okuloopera palamenti nga bwafunye okwemulugunya okuva eri abatuuze abali ku luguudo lwa Luwero-Kiwoko Butalangu,Northern by pass ,Bujuuko,Mpigi ,Wakiso ne bitundu ebirala ewali mu kukolebwa nga kati bakooye okutambula okubanja ensimbi zaabwe.
Omubaka Mayanja kati asabye minisitule ye bye ntambula okusasula bunnambiro abatuuze bano mu bwenkanya nga tebanekyawa.
Mukumwanukula minister ow’ebyentambula General Edward Katumba Wamala agambye nga gavumenti bwerina enteekateeka y’okusasula abatuuze bonna nge’ra abo abatannafuna nsimbi zabwe basabiddwa okugumiikiriza kuba alina obukakafu nti esaawa yonna ensimbi zabwe bajja kuzifuna.
Ebigambo bya minister Katumba Wamala birabise nga tebisanyusiza mubaka wa Butambala Hajjat Aisha Kabanda ng’agamba nti kimenya mateeka okukolera ku ttaka ly’omuntu nga tomusasudde nga n’olwensonga eno gavumenti teyanditandise kukolera ku ttaka lyabatuuze nga tebanasasulwa.
Bya Namagembe Joweria