Politics

Palamenti eyisizza embalirira y’omwaka gwe by’ensimbi 2023/24, yakumalawo obusiriivu bwezayuganda (Trillion) 52.73

18/05/2023

Palamenti eyisizza embalirira y’omwaka gwe by’ensimbi ogujja 2023/24 nga yaakuwemmenta obusiriivu bwezayuganda (Trillion) 52.73.
nga essira okusinga liteekeddwa ku byakwerinda.

Embalirira eno eyanjuddwa Minisita omubeezi owa guno naguli mu minisitule yeby’ensimbi Henry Musasizi nga ebitunuuliddwa nga oggyeko ebyokwerinda, kuliko okuzimba nokuddabiriza enguudo zi mwasanjala ne z’omubyalo, , amasannyalaze,oluguudo lweggaali y’omukka ne birala.

Wabula bo abasawo abakyegezaamu tebatunuuliddwa mu mbalirira eno,era minisita we byobulamu mu gavumenti eyekisiikirize Dr Batuwa Timothy nga bwannyonnyola.

Minisita we byensimbi mu gavumenti empabuzi Muhammad Muwanga Kivumbi agamba tewali nnyo kipya mu mbalirila eno era ayolese obunafu bw’ababaka banne bweboolesezza mu kutema embalirira eno.

Ate ye omubaka akiikirira Nakaseke eya masekati Allan Mayanja Ssebunya alaze obweralikirivu ku mutitimbe ogussiddwa mu by’okwerinda ate eby’obulamu nebibeera emabega kyagambye nti kyakwongera okukosa naddala abateesobola.

Embalirira eno yaakusomebwa eri eggwanga nga ennaku z’omwezi 14 omwezi ogujja ogw’omukaaga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *