Politics

Embalirira y’omwaka 2023-2024 yakusomebwa nga 14-6-2023

Paalamenti eyisiza
embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24
Ya busse 52 .737 (trillion),
Minisita omubeezi owa guno na guli mu minisitule y’ebyensimbi Henry Musasizi ayanjulidde palamenti embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2023/24 ngeno ya (Trillions) 52.737.

Ssente zino zalinnya okutuuka awo okuva ku (Trillion) 50.912 olw’omuwendo gwa ssente eziyingira mu ggwanika ly’eggwanga ogusuubirwa okweyongerako

Okusinziira ku minisita Musasizi ssente ez’okuvujjirira embalirira eno zaakuva mu misolo,mu bagabirizi b’obuyambi awamu nemukuyita mu kuvujjirira zi project ezitali zimu.

Minisita era akikkaatirizza nti ku luno essira ly’akuteekebwa ku bintu ebiteewalika olwa ssente entono eziriwo nategeeza nti embalirira y’omulundi guno essira eritadde ku bulimi, n’obulunzi obwettunzi okugaziya amakolero nobuweereza,okutumbula ebyamagezi agekikugu n’okugaziya obutale.

Ababaka ku ludda oluvuganya nabo baweereddwa olukusa okusoma okuwabula embalirira nga bwe bandiyagadde ettambula

Palamenti wakati w’ababaka 182 bano beebabaddewo nga embalirira eno eyisibwa.
Sipiika wa Palamenti Anneti Among obwedda abuuza ababaka oba bakiriza okuyisa embalirira eno kubuli kintu ekitereddwamu ensimbi.

Ababaka abamu balabiseeko nga ebintu ebimu bye babadde basuubira nga tebitekeddwako nsimbi nga abasawo abatendekebwa.

Akulira oludda oluvuganya asabye bannauganda okwesiba bbiri kubanga embalirira eyisiddwa telubiridde kubayamba kukulakulana.

Speaker wa Paalamenti asabye ababaka okulondoola ensimbi gye ziteekeddwa yonna ng’ogumu ku mulimu gwabwe.

Embalirira eno egenda kwanjulibwa eri eggwanga n’okusomebwa mu butongole nga ennaku zomwez 14 omwezi ogwomukaaga e’Kololo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *