PALAMENTI EZZEEMU OKUYISA EBBAGO KU MUKWANO OGW’EBIKUKUJJU OMULUNDI OGW’OKUBIRI
02/05/2023
Palamenti ezzeemu okuyisa etteeka erikugira omuze gwe bikolwa eby’ebisiyaga erya Anti homosexuality bill 2023 omulundi ogw’okubiri oluvannyuma lwalino okukomezebwawo mu Palamenti okuva eri omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubaako obuwaayiro bwebaterezaamu.
Oluvannyuma lw’ebbago lino okusooka okuyisibwa palamenti ku ntandikwa y’omwaka guno omukulembeze w’eggwanga Kaguta Museveni yagaana okulissaako omukono naalizza mu palamenti nga aliko obuwaayiro busatu bwayagala busooke butereezebwe nga muno mulimu ekya palamenti okwongera erambulule ku muntu ki era anaavunaanibwanga ddi ku buli bwebisiyaga,nnyini kizimbe ekikolerwamu omuze guno ne nsonga y’okuwaabira omuntu eyenyigira mu muze guno nga
eyaleeta ebbago lino era omubaka wa Munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa bwannyonnyola
Ababaka 341 be bawagidde ebbago lino awatali kwesalamu nga omubaka wa west Budama Fox Odoi yeeyekka ataliwagidde
Speaker wa Palament Annet Anita Among yeebazizza Ababaka oluvannyuma lw’okuyisa ebbago lino nagamba nti okutiisatiisa kw’abazungu okujja ku uganda obuyambi tekugenda kubajja ku mulamwa gwa kukuuma nnono.
Akulira oludda oluwabula gavumenti Mathias Mpuuga asabye gavumenti okulwanyisa omuze gw’obuli bwe nguzi nga agamba nti ssente Uganda zejja mu bugagga obwensibo zigimala okukola ku bizibu byayo awatali kwegayirira ssente za bazungu ez’obukwakkulizo.
Amyuka Ssabaminisita ow’okusatu Hajat Rukia Nakadama asiimye omukulembeze we ggwanga obutavumbeerera mu bbago lino.
Bya Namagembe Joweria