Politics

SPEAKER AGOBYE DEPUTY ATTORNEY GENERAL JACKSON KAFUUZI MU PARLIAMENT.

 2nd May 2023.

Speaker wa palamenti Anitah Annet Among agobye omumyuuka wa ssabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi obutadamu kuwabulanga Palamenti ku bbago oba etteeka lyonna eriba lireteddwa mu Palamenti, nga entabwe eva ku bbaluwa Kafuuzi gyeyawandiika ng’eraga nga bweyakakibwa Palamenti okukiriziganya nayo bweyali eyisa ebbago elikugira omukwano ogwebikukujju elya anti homosexuality Bill 2023.

Kafuuzi kigambibwa nti yasooka kuwandiikira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni ebbaluwa ngemulabula obutassa mukono kubbago lino, oluvanyuma lw’okuzuula obuwayiro obwenjawulo obwali bwetaaga okukolamu enongosereza era mungeri yeemu neyewakana okuwagira okuyisa ebbago lino ngagamba nti yakakibwa Palamenti.

Bwabadde aggulawo olutuula lwa palamenti olw’olunaku olwa leero, Speaker wa palamenti Anitah Annet Among alazze obwennyamivu olw’ebigambo by’omumyuka wa Ssabaworereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi kyagambye nti ekikolwa kyeyakola kyakulyamu Palamenti lukwe kuba ye tajjukira lunaku nalumu kukaka muntu yenna okukiriziganya naye era gyebigweredde ngalagidde Ssabaworereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka okubeerangawo buli wewanabangawo okuyisa ebbago lyonna okwewala ebintu eby’ekikula kino.

Ssabaworereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka agezezaako okwetondera palamenti olw’ekyo ekyakolebwa omumyuukawe newankubadde nga kino tekimattiza palamenti eyawamu ekiwaliriza ababaka okukaka speaker ayitte amyuka sabawolereza Jackson Kafuuzi mwenyini agye yetondere palamenti.

Kafuuzi mubigambo bye alabisenga agyelegerera era nga mukugezaako okunyonyola ayongedde okukikaatiriza nti ye byonna byeyakola yali atuukiriza buvunanyizibwa ekintu ekitanudde speaker okumulagila obutaddamu kubaako okuwabula kwonna kwaawa Palamenti ngagamba nti tayinza kukolagana namuntu alya mululime nemuluzise.

Jackson Kafuuzi oluvanyuma lwa speaker okumulagira obutaddamu kuwolereza gavumenti mu nsonga zamateeka, ono akirizza nti speaker alina obuyinza okusalawo kyonna nga wabula wakufunayo akadde ayongere okwogeraganya naye n’okwongera okumunyonyola ekituufu kweyasinziira okulabanga embeera edda munteeko.

Kafuuzi era atangaanziza nti singa teyakola kuwabula kweyakola eri omukulembeze weggwanga okukomyawo ebbago lino ebbago lino lyandibaddemu ebituli bingi ekintu ekyali wadde ekyanya abamenyi bamateeka okwongera okwegiriisa.

Bya Namagembe Joweria.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *