Puluzidenti Museveni akubye ebituuli mu bukiiko bwa palamenti obulondoola ensimbi y’omuwi womusolo
Omukulembezze w’egganga yoweri kaguta Museveni akubye ebituuli mu bukiiko bwa palamenti obulondola ensimbi y’omuwi womusolo obumala obudde nga bunonyereza nebakomekereza nga bakutte byooya byanswa.
Museveni okwongera atyo abadde aggulawo mu butongole eddwaliro lya Bukedea Teaching Hospital ne Bukedea College of Health Sciences, eryatandikibwawo omubaka omukyala mu kitundu kino era nga ye Sipiika wa Palamenti, Rt Hon Anita Annet Among bwategeezeza nga bwekimutwalidde edakiika ntono okuzuula wa spiika jeyajja sente zeyazimbamu ebintu ebyenjawulo, oluvanyuma lwokumubuuza wa gyeyajja sente .
Wano asiimye Among okuberera omukyala omutetenkanya kko nokusembereza abantu be empeereza ey’omutindo.
Ye spiika Annet Anita Among mukwaniriza omukulembezze w’egganga amutegezeza nga ensimbi ezamuweebwa okuva jaali zeyakozesa okusobola okuzimbamu eddawaliro kosa ne somero elya senior erya Bukedea progressive secondary school.
Mungeri yemu ye omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Annet Anita Among akubiriza bannayuganda okunyiikira okusimba emitti okusobola okulwanyisa enkyukakyuka yobudde .
spiika okukubiriza kuno akukoze bwabadde asimba omutti ogumuwereddaa ekitongole ekivunanyizibwa ku bibira ku ddwaliro lye erijanjaba n’okutendeka abasawo erya Bukedea teaching hospital eriguddwawo omukulembezze wegganga Yoweri Kaguta Museveni
Among agamba okusinziira kumbeera yobudde nga bweri kati ey’omusana nga yawaliriza n’abeggwanga lya South Sudan okugalawo amasomero olwomusana omunji.
Mungeri yemu ye omukungu okuva mu kitongole ekivunanyizibwa kubibira ekya Uganda forest Authority Michael Kisulo omutti gwakwasiza sipiika Among agogedeko nga omutti oguliko eddagala eliwonya endwadde ezenjawulo nga muno mwewuli ne kookolo atawanya abami.
Bya Namagembe Joweria