Politics

Sibugayaavu okunzibako obukadde 118 mu motoka – Sseggona.

Ssentebe wa kakiiko ka palamenti akalondoola ensimbi zomuwi womusolo mu bitongole bya gavumenti aka COSASE Medard Lubega Sseggona asabanzze ebyogerwa nti yalagajalirira ensimbi ze bakanabe nebatuuka nokumubaako obukadde 118

Olunnaku lwe ggulo amawulire gasasanidde e gwanga nga galaga nti polisi yakutte bakanaabe abagambibwa nti babba ku mubaka Sseggona obukadde 118 ono weyali abalekedde emotooka ye okugyoza.

Ssegoona bwabadde ayogerako nebanamawulire ategezeeza nti kituufu yabibwako obukadde 118 wabula agamba nti si kituufu nti emotooka yali ajirekedde bakanabe .

Sseggona agamba nti ensimbi zino zamubibwako nga mwali mu motooka nagamba abavubuka bakozesa omukisa nga ali ku ssimu okumubbako ensimbi zino.

Sseggona era agaseeko nti awulidde abantu nga bamwogerera olwe nsimbi zino nagamba nti kyebalina okumanya nti ensimbi zino yazifuna mu makkubo matuufu nga eno ye nsonga lwaki webamubba yekubira endulu polisi nayo eyamuyambyeko okunonya abavubuka bano nga ku bukadde 118 bakazulaako obukadde 85.

Sseggona era asimye abo bonna abavuddeyo nebamusasira olwe bizibu byeyafunye .

Ono wabula akukulumidde polisi olwo kutemya ku banamawulire ababba ssente nebeyongerayo kwosa okuteeka obulamu bwe mu matiiga.

Sseggona ategezeeza nti alina esuubi nobukadde 33 obukyanonyezebwa wakubufuna.

Bya Namagembe Joeria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *