Islamic

Sheikh Obeid Kamulegeya alondeddwa okukulira akakiiko akeebuzibwako ku nsonga z’obusiraamu.

Sheik mukulu Abdul Obeid Kamulegeya olunaku olwalero alondeddwa okukulira akakiiko akebuzibwako ku nsonga z’obusiramu (Shurah Council) mu Uganda n’olukiiko lwabantu 21 bagenda okudukanya nabo emirimu gino.

Bano balayiziddwa leero kukitebe ky’obusiramu ekya Uganda Muslim Supreme Council e’Kampala mukadde era omukolo gukoleddwa mufuti wa Uganda his eminence sheik shaban Ramadhan mubajje n’olukiiko lwe.

Sheik Kamulegeya akalatidde abalina ensonga z’obusiramu ezibaluma okuzitwala mu kakiiko kano aka Shurah council okuzigonjoola n’okuzinogera eddagala okusinga okweyuza n’okuddukiranga mu mbuga z’amateeka. Yeyamye okuwereza n’omutiima gumu wamu n’olukiiko lwe olwa abantu 21 lwalondeddwa nalwo.

Mungeri yemu Waliwo n’akakiiko akalala k’abantu 11 akalondeddwa aka ba (Trustee) abaweereddwa obuvunanyizibwa bw’okulodoola n’okulabirira eby’obugagga by’obusiramu mu Uganda yonna nga lukulilwa hajji Muhammad Gaino n’amyukibwa hajji Jamada Lutta Musoke.
Mufuti mubajje agambye nti kati takyalina buyinza kubyabugagga byabusiramu wabula kati akwasaganya nsonga zaddini zokka.

Asabye abalayiziddwa okukola emirimu gyabwe n’amazima, obwesimbu n’obwesigwa. Mufuti agambye nti zino zezimu kunkyuukakyuka empya ezakolebwa mu ssemateeka w’obusiramu omupya okwanguya empereza y’emirimu gy’obusiramu n’okutondawo obukiiko obwenjawulo obukola emirimu egyenjawulo. Obukiiko buno bolondeddwa olukiiko lwa Joint Session.Omukolo guno gwetabiddwako amyuuka mufuti wa Uganda asoka sheikh Abdallah Ssemambo, omumyuuka owokubiri Dr Muhammad Ali Waiswa, sheik Hussein Rajab Kakooza, chairman wa Uganda muslim supreme council prof Dr Muhammad Lubega Kisambira, ba member ba executive ya Umsc nabalala.

Bya Kabangala Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *