Sheikh Ssemakula amaze mu buwerezza emyaka 35 asiimiddwa ne Pikipiki mpya.
Omuwalimu Sheik Juma Sharawi Semakula owe Bakka- Busawuli mu Gombolola y’eMende mutwale ly’eGombe Kitaasa mu district y’eWakiso amaze mugwobuwereza emyaka kati 35 akubiddwa enkata yantambula ya piki empya ttuku.
Sheik ono amaze ebbanga lyamyaka 35 nga atambulira kukagaali era essanyu kata limutte nga akwasibwa piki eno.
Piki piki eno ekika kya Kevla ebalilirwamu obukadde buna 4000,000/= emuwereddwa District Kadhi wa Wakiso Mawulana Sheik Elias Kigozi Nkangi n’emikwano gye omuli Mariam Mayimuna Abubaker okuva mu ggwanga lya America munteekateeka gyaliko ey’okukwasizako abawalimu okwekulakulanya n’okwegya mubwavu.
Omukolo gw’okukwasa sheik Sharawi Semakula gubadde ku muzikiti Sheik ono gwakulembera ogwa Masjid Ta’alim Buganda Busawuli Bakka wamu n’okutongoza omulimu gw’okuzimba omuzikiti guno.
Mububaka bwe sheik Elias Kigozi akubirizza abasiramu obutenyooma n’obutagwamu suubi kubanga Allah akola ebyamagero. Agambye nti sheik Sharawi yamunyumirizaako nti emyaka 35 gyamaze abadde avuga kagali era kamukubye ebigwo ebiwera nga n’ekigwo ekyasemba kata amenyeke amagulu, kadhi kwekusalawo okugulira sheik ono ekidduka ekipya asobole okutambuza obulungi omulimu gwa Dawa mukitundu kino. Asabye abasiramu okubeera n’okukkiriza Allah kubanga asobola okukyuusa embeera y’omuntu mubbanga ttono ddala.
Sheik Juma Sharawi Semakula asiimye emirimu ejikolebwa district kadhi sheik Elias Kigozi egyokulakulanya obusiramu bwa Uganda wamu n’okumuyamba okumugulira entambula ya piki empya neyeyama okujikozesa okubunyisa obusiramu mukitundu wamu n’okolerako emirimu ejimuyamba okubako kyayingiza mumaka.
Bya Ismail Tenywa.