Politics

Muzimbire abakadde amayumba balekerawo okubonabona.

Nga Uganda yetekeratekera okukuza olunaku lwabakadde nga lumu omwezi ogujja ogwekkumi, Ababaka ba palamenti kuludda oluwabula gavumenti basabye gavumenti okuzimbira abakadde amayumba kibayambeko obutabonabona mubiseera byabwe ebyobukadde.

Okusinziira ku mubaka wa Kyotera district, Fortune Nantongo agamba nti gavumenti eriko bingi byelemeredwa okusa munkola wabula yandifubye neraba nti ensimbi eziweebwa abakade zongerwako era mungeri yemu n’emyaka gikendezebwe kubanga obulamu bwa bannansi bujululwa nga bangi tebanaweza myaka 85.

Mulukungaana lwabamawulire lwebatuzizza ku palamenti olunaku lwa leero, ababaka bano bagamba gavumenti tefudde kubakadde kimala nganensimbi zebaba batadde mumbaririra yebyensimbi ate zirwawo okufuluma ekintu ekireka abakadde muggwanga ngabataawa.

Omubaka Fortunate Nantongo (Kyotera) atadde gavumenti yakuno ku nninga okulaba nga balabirira abakade okwewala okubera mu nyiike.

Bano bagamba nti n’ensimbi emitwalo ebiri nekitundu egiweebwa abakadde bano zikyali nzibu okufuna olwemisoso egyetobeseemu omuli nokukalubirizibwa okufuna ndagamuntu ngakati baagala ekitongole Kya NIRA okuteekawo enteekateeka eyokutuukirira abakadde bano okubawandiisa okufuna ndagamuntu.

Omubaka omukyala owa Mityana district Joyce Bagaala Ntwatwa agamba wandibaddewo enteekateeka eyokuzimbira abakadde amayumba kuba banjji basanga okusomozebwa okwamaanyi okubaletera obutezimbira nnyumba ng’era bano tebalemye kwebaza Kabaka wa Buganda olwokuba omusaale munteekateeka yokuzimbira abakadde amayumba bwebatyo nebasaba ne gavumenti okumulabirako

Ye omubaka wa mawokota North Hillary Kiyaga ayagala gavumenti bweba ekola embaririra okusosowaza abakadde nokufulumya ensimbi mubudde kibayambeko buli mukadde okufuna ensimbi zino mubuude okusinga okubakandaalirizanga nga zimalayo emyezi esaatu nokuda wagulu.

Omubaka wa Nakaseke central Allan Mayanja Ssebunya ayagala emyaka gyabakadde gikendeezebweko nga nebiwandiko ebilala okuli birth certificate ne baluwa zobufumbo byandikozeseddwa okulaba nga babawa ensimbi zabakade kubanga ndagamutu zibasumbuwa nyo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *