Sipiika Among avuddeyo ku mataba agatabuse mu Kampala
Sipiika wa palamenti Anitah Among alagidde gavumenti okuleeta alipoota ku mataba aganjaalira mu kibuga Kampala.
Ekiragiro kya sipiika kino wekijjidde nga gavumenti yaakasaba palamenti looni ya yabukadde bwa doola za America 325 nga kuno Uganda yakwongerezebwako doola za America obukadde 25 okuva mu kibiina kya banka y’ensi yonna nga zakussaawo pulojekiti eyennima ekuuma obutonde bwensi etuumiddwa Uganda ‘Smart Agriculture Transformation Projects’ .
Bwabadde aggulawo olutuula lwaleero speaker agambye nti namuttikwa w’enkuba afudembye enkya ya leero mu bitundu bya Kampala ebisinga avuddeko amataba agonoonye ebintu by’abantu nokutaataaganya entambula yebidduka nga nabwekityo gavumenti erina okuvaayo annyonnyodde abantu ky’egenda okukola okusobola okutaasa embeera eno.
Nampala wa gavumenti mu palamenti Hamson Obua akakasizza sipiika ne palamenti nti wakutegeeza minisita wa Kampala Hajati Minsa Kabanda nga yakwatibwako ensonga eno aleete alipoota eno.
- January 2025
- December 2024
- November 2024
- October 2024
- September 2024
- August 2024
- July 2024
- June 2024
- May 2024
- April 2024
- March 2024
- February 2024
- January 2024
- December 2023
- November 2023
- October 2023
- September 2023
- August 2023
- July 2023
- June 2023
- May 2023
- April 2023
- March 2023
- February 2023
- January 2023
- December 2022
- November 2022
- October 2022
- September 2022
- August 2022
- December 2017
- March 2015
Bya Namagembe Joweria