Politics

Abayizi ku Crown Junior bolesezza ebitone.

.

Omubaka mu palamenti akiikirira abantu ba Tororo county mu palamenti Hon. Geoffrey Ekanya munnakibiina kya Forum for democratic change asabye amasomero okwaniriza enkola ya tekinologiya mu kusomesa abaana kubanga kati ensi edduka misinde mubya ‘science ne Technology’ .

Hon. Ekanya okwogera bino asinzidde kusomero lya Crown Junior School e Katooke -Kisimu mugombolola y’eNabweru mu Wakiso kumukolo gw’okuttikira abayizi ba ‘top’ wamu n’okwolesa ebitone ebyenjawulo omuli emizanyo,katemba,ebitontome,okusoma Quran,nebirala bingi.

Hon Ekanya agambye nti amasomero eritayanirize science ne tekinologiya gakufiiriza abaana ebintu bingi bingi kubanga kati ensi eyimiriddewo ku tekinologiya. Ono asabye abazadde okufaayo ennyo kubaana omuli okubalabirira n’okubakwasisa empiisa mukisera kino eky’oluwumula oluwanvu,kubanga bayinza okufuna emitawana.

Omutandisi w’esomero lya Crown Junior school Kisimu Nalongo Namwanga Lukia asiimye abazadde ababawadde abana mubbanga ettono lyebamaze mukisawe ky’ebyenjigiriza.agambye nti batandika nabayizi 100 mumwaka oguwedde naye webtlutuukidde omwaka guno kati bakunukiriza abayizi 200.

Agambye nti balina enteekateeka engazi omuli okugaziya esomero lino wamu n’okwongera okusitula omutindo gwebyensoma mu Kisimu. Asabye abazadde okuwaayo abaana babwe akadde muluwumula nga luno okwogera nabo n’okubalambika byebatekeddwa okola.

Agambye nti olunaku luno balutekawo buli mwaka okwongera okuzimba talanta z’abana kubanga nazo kyafuuka kyabugagga kati.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *