Politics

Sipiika Among ayanjudde Gen. Muhoozi mu Teso.

Namunji w’omuntu yeyiye kumukolo ogutegekeddwa sipiika wa palamenti Anitah Annet Among nga ayaniriza mutabani w’omukulembezze w’egwanga era omuwabuziwe ku nsonga ez’enkizo Gen. Muhozzi Kainerugaba mu Tteso, nga omukolo guno guyindidde kusomero lya Kongunga primary school mu Kachumbaala e’Bukedea.

Speaker wa palamenti Anitah Annet Among nga yegatidwaako omumyukawe Thomus Tayebwa, ababaka ba parliamenti okusinga abava mukibiina kya NRM, ba minisita saako nabattakansi bebanirizza Gen. Muhoozi mukawefube we gwaliko owokutalaaga ebitundu by’egwanga ebyenjawulo okusobola okulakulanya banna Uganda mubyenfuna.

Olunaku olwaleero lwerukomekerezza olukungaana olwennaku ebbiri sipiika wa palamenti Anitah Annet Among lweyategese mu district ye Bukedea nga olunaku olweggulo lwabadde mumakaage agasangibwa mu muluka gwa Aeyerere mu district ye Bukedea era guno gwetabiddwako ababaka ba palamenti abasoba mu bisatu(300), abakungu okuva mu gavumenti, abamu kubatakansi saako nebannadiini.

Sipiika bwabadde ayaniriza Gen. David Muhoozi Kainerugaba, amwebaziza olwokujja kubutaka bwe Tteso wabula namusubizza nti bo nga palamenti bakuwagila enteekateeka zze kasita zinaabanga zakutwaala egwanga mu maaso.

Gen Muhoozi mukwogera kwe anyonyodde ebiruubirirwa bye, nga okusingira ddala kwekukwatilako abavubuka saako nabakyala mukwekulakulanya, era ono bwavudde wano yeyongeddeyo paka mu district ye Soroti okusisinkana abavubuka okusobola okubaako etafaali lyabagattako.

Bya Joweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *