Sipiika Among yebazizza Museveni olw’okuwagira ttabamiruka wabwe.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agguddewo tabamiruka wa ba sipiika okuva mu mawanga agali mu luse olumu ne Bungereza olwa (Conference of Speakers and Presiding officers of the Common Wealth) nalabula amawanga agalowooza nti gaatukirira mu buli kimu okukomya okukaka amawanga amalala okugoberera obuwangwa ne nkola zaabwe wabula bakole ekituufu abantu babayigireko nga beeyagalidde.
Museveni abategeezezza nti newankubadde abamu beeraba nga Abamerika naye bonna bakimanye baaliko abafirika ebikolwa ebirinyirira eddembe lyóbuntu bisaanye bikome ku mulembe gwa Bungereza weyali nga ekyafuga Uganda.
Ono yekokodde engeri abangereza gye baatulugunyangamu eggwanga, nawankubadde abasiimye olwókuleetawo olungereza kubanga buli nsi mwalaga ezisinga asobola okuwuliziganya nábaayo.
Wabula ategeezezza nga kaweefube wa gavumenti gyakulembera ow’omwenkanonkano bwakyabuliramu ddala okutuuka webamwetaaga olwe bifo by’abakyala mu Palamenti okuba nga bikyali bitono okusinziira n’omuwendo gwa baami kyagambye nti buli ggwanga lisaanidde okukirwanako.
Ku constituency Uganda zeerina eziwera 314 kuliko consitituency 14 zokka omuva abakyala nga nolwekyo wano walina okussibwawo amanyi okwongera ku bifo byabwe mu Palamenti nga kino kyekyawaliriza ne gavumenti okwongera okutondawo ebifo.
Nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezénjawulo ezibakunganyiiza , awabudde bésigame nnyo ku kuwangana amagezi okugonjoola ebizibu bye basanga kyeyayise “Down with philosophical ,ideological and strategic challenges”.
Sipiika wa palamenti Anita Among, ssentebe wólukungaana luno olwómulundi ogwá 27, mu kwaniriza omukulembeze wéggwanga ne ba sipiika abagenyiwaddeko wano, agambye nti bakukubaganya ebirowoozo ku ngeri obutonde bwénsi gye buyinza okukuumibwamu, engeri abavubuka nábantu abékikula kyonna gye bayinza okukiikirirwamu awatali ku sosolebwa , saako engeri ababaka gye bayinza okuweerezaamu eggwanga mu ngeri eyeyagaza.
Bya Namagembe Joweria.