Politics

Ebya IPLE 2023 bifulumye abayise bajaganya.

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by’obusiraamu eby’omutendera gwa Primary ekya Islamic Primary Leaving Examinations Board, (IPLE), kifulumizza ebyavudde mu bigezo byabayizi abaatula omwaka 2023, ng’abayizi ebitundu 97 ku 100 baayise.

Ku baana 5,311 abaatula ebigezo omwaka oguwedde, abayizi 3,809 baayitidde mu daala lisooka, 1,042 mu ly’okubiri, 187 mu ly’akusatu, 138 mu ddaala ery’okuna, ng’abagudde bali 68 bokka ate 67 tebaatudde newankubadde baali beewandiisa okubituula.

Omuwendo gw’abayizi ebitundu 97 n’obuwuzi 5% okuyita ebigezo, kyesigamiziddwa ku muwendo omungi ogwabaana abeyongerako omwaka guno mu kubituula, ng’amasomero agaatula ebigezo geeyongera okuva ku 231 okutuuka ku 291 n’okuva mu district 48 okutuuka mu district 56 okwetoolola eggwanga lyonna.

Abaana abalenzi bakoze bulungi ebigezo by’ediini bino ku mutendera gwa Primary, ngabalenzi ebitundu 56% abatuula ebigezo babiyise ate abawala ebitundu 42% bebabiyise ssonga ku 68 ababigudde abalenzi bali 25 naabawala 43.

Bwabadde asoma ebyavudde mu bigezo bino eby’omulundi ogw’omukaaga ku muzikiti gwa Old Kampala,Sheik Ismail Kazibwe Kitiibwa , agambye nti ebigezo byabayizi 4 bikyakwatiddwa binonyerezebwako ate ng’essomo ly’okusoma Quran erikwata ku kitabo ky’obusiramu ekitukuvu n’erya Fiqih erikwata ku byafaayo naamateeka g’obusiraamu byebyasinze okukolebwa obulungi.

Essomo lya Tarbiyah erikwata ku mpisa ne nnono z’obusiramu eryasinga okukolebwa obulungi omwaka oguwedde ate ku mulubdi guno lyeryasinze okukolebwa obubi neridirirwa essomo lya Lugha erikwata ku kusoma olulimi oluwalabu.

Kazibwe annyonyodde nti newankubadde ebigezo bya mutendera gwa IPLE, waliwo naabayizi abali mu bibiina mu masomero ga Secondary abatudde ebigezo bino.

District ye Kapchworwa yesinze okukola obulungi nedirirwa Busia, Budaka, Butebo, Lyantonde, Kyotera, Bundibugyo nendala nga wabula district ye Koboko, Masindi, Kiboga, Tororo, Rukungiri nendala zezasinze okukola obubi.

Abayizi e 10 abasinze mugwanga kuliko Namutete Sulaiman Kajoba Okuva ku Lufuka Quality Islamic primary school e Ndejje,Kintu Imran era okuva kusomero lyelimu,Kalungi Abdul Rahim okuva ku Hudah primary school,Kasambula Hussein okuva ku Ibun Hamis Islamic ss matugga nabalala.

Abamu kubayizi abawala ekumi abasukulumye kubanabwe mu Uganda kuliko Nantege Raibah okuva ku ibun hamis Islamic ss matugga,Nanono Skukurat okuva ku Hudah primary school,Namara Sumaiyah okuva ku Ibun Hamis Islamic ss matuga,Nassuna Bushirah okuva ku Al Bayan Islamic primary school e iganga,Kakomo Sharifa okuva ku Sweet Valley Islamic primary school Bombo,kayinza Hindu okuva ku Lufuka Quality, mutazindwa Nurah okuva ku sweet valley Islamic primary school Bombo nabala.

Amasomero ekumi agasinze mu Uganda yonna kuliko Sumaiyah international masaka,Lufuka Quality Islamic primary school Ndejje,Hasanah Junior school,Al Bayan Quran memorization centre Iganga,Ibun Hamis Islamic ss matuga,sulainah sofra pri sch,Ak Islamic Junior school magango,Umar bun Khatwab iganga,Al Furqan pri sch mbale, Ne Sweet Valley Islamic primary school e Bombo Luwero.

Shk Juma Bachit Cucu, avunanyizibwa ku kitongole ky’eby’enjigiriza ku kitebe ky’obusiramu kino, agambye nti batandise ku kawefube w’okuwandiisa abayizi nga bayitira ku mitimbagano, okukola ‘curriculum’ y’obusiraamu eyaawamu okwewala abasomesa ebyekiyeekera.

Azeemu okulabula amasomero g’omusingi g’obusiraamu obutadamu kukola nga ssimawandiise ku kitebe ky’obusiramu ekya Kampala mukadde, okusobola okufuna abaana ab’omutindo mu diini.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *