Politics

Sipiika Annet Anita Among ayanjudde eby’obugagga bye nasaba ababaka bamulabireko

Ng’omu kukawefube w’okulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga , omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Annet Anita Among awagidde kawefube wa kaliisoliiso wa government bwayanjudde eby’obugagga ,enyingiza ye ko nensaasaanya eri kaliisoliiso wa government nga asinziira mu kawayiro 31 mu ssemateeka akafuga abakulembezze.

Sipiika bwabadde ku mukolo ogw’okwanjulira kaliisoliso wa government ebyobugagga bye ogubadde ku palamenti, akuutidde abakiise mu lukiiko lw’eggwanga olukulu okugoberera akawayiro 31 mu ssemateeka w’eggwanga akafuga abakulembeze okwanja byebalina byona ng’amateeka bwegalagira.

Ono yewuunya ku lwaki abantu bakweeka ebintu byebalina bwebaba nga baabifuna mu makubo malunji era nalaga nga kino bwekijja undocumented obuli bwenguzi,obulyake, ko nobukenuzi wano mu ggwanga.

Wano sipiika asuubizza okuwagira office ya kaliisoliiso wa government mu buli mbeera omuli nebyenfuna okubasobozesa okukola emirimu jaabwe era nabategeza nga okusoomozebwa kwebayitamu bakumanyi nti baakubayambako .

Dr Patricia Achen Okiria ng’ono yamyuuka kaliisoliiso wa government Betty Olive Kamya atasobodde kubeerawo ku mukolo guno atenderezza sipiika Among olw’okuba ekyokulabirako okwanja eby’obugagga bye era nti nga bo batuukiriza buvunaanyizibwa obwabaweebwa mu ssemateeka wa nnyaffe Uganda .

Ono naye akozesezza akakisa kano nayanja ebyobugagga bye eri omukubiriza wolukiiko lweggwanga Annet Anita Among nga bwekirambikiddwa mu mateeka,nategezeza nga abakulembezze ba government abasooba mumitwalo 34 bebasubirwa okwanja ebyobugaga byabwe nga bwekirambikibwa mu ssemateeka w’eggwanga.
Ono ayongeddeko nti mukiseera kino baweza emisango 45 ejiri mu kooti egyabo abagaana okwanja ebyobugaga byabwe.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *