Politics

Ssabaminisita Robinah Nabbanja yegaanye eby’amabaati.

6th April 2023.

Ssabaminisita weggwanga Robina Nabbanja Musafiri ebyokwenyigira mukugabana amabaati ge Karamoja abyegyeemu, agambye ye amabaati ebikumi ebitaano(500) geyafuna gaava muminisitule y’ensonga y’ebigwa tebiraze nebibamba kwago agalina okuweebwa abantu abakosebwa mubendobendo lye bunyoro era yagatwalira bantu be abe kakumilo nga nolwensonga eyo baleke awo okumusongamu olunwe.

Ssabaminister Robinah Nabanja okwogera bino abadde alabiseeko mukakiiko ka Palamenti akavunanyizibwa kunsonga zobwa president nategeezezza nti ye tafunanga kumabaati ga Karamoja ngera geyafuna gaali gagenda mu bendobendo lye bunyoro gava kyagamba nti enkola y’okugaba amabaati mubitundu okw’etoloola eggwanga ebaddengawo okuva mu mwaka gwa 2007 ngakati ye talina musango.

Nabbanja bwavudde awo naawa akakiiko ekilowoozo nti okumalawo ekizibu kino,abaatwala amabaati agaali galina okugenda e Karamoja abatanagakozesanga bagakomyewo bunambiro.

Nabbanja era yetondedde nebanayuganda olwebyo ebyagwawo wabula ababaka bwebamukunyizza anyonyole kubunafu mu yafeesi ye mukulondoola emirimu egikolebwa ba minisita be ,Nabbanja agambye bano bantu bakulu, abasinga bamusinga nobuyigirize nganolwensonga eyo talaba lwaki abalondoola ngabaana abato.

Era Ono mubufu bwebumu agamba, ensonga za mabaati yeyasooka okuzimanya era nateekawo nakakiiko okukola okunonyereza newankubadde ngateyayagala kubyasanguza mumawirire ngalina ekilowoozo nti binaggweera munda.

Ye Ssentebe wakakiiko kano Jessica Ababiku ategeezezza nti abantu abaafuna amabaati gano abasinga bamaririza okubasisinkana ngakati bali kubintundu 98% newankubadde ngabwabuziddwa kukyokusisinkana Sipiika wa palamenti Anita Annet Among ngomu kubaafuna amabaati gano, ono agambye ensisinkano yabwe yagudde butaka Oluvanyuma lwolunaku olwabawebwa ate sipiika okufunirako omugenyi owenkizo ngakati bakukozesa ekiwandiiko kyeyabawa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *