Supreme Mufti asiimye emirimu gya BMK gyeyaleka akoledde obusiraamu
Suprem mufti wa Uganda Sheikh Shaban Muhammad Galabuzi atenderezza emirimu ejokolebwa Hajji Ibrahim kibirige gyeyakola nga ono abadde kumukolo gw’okujjukira amugenzi Hajji Ibrahim Kibirige nga yeyeyali ssentebe wa BMK GROUP
Mufti yabazizza era natendereza abasiraamu abawayo zaka neyamba abantu abenjawulo,
mufti asabye abasiramu okwagala obusiraamu ate bafube nyo okulaba nga benyigira munteekateka yona eyobusiraamu
olwo lwebunasobola okukulakulana nga abasiraamu
Ye Hajji Ngobya Mubarak nga ono mukulembeze ku Hotel Africana akubirizza bannauganda okufayo ennyo okugaba omusaayi kuba tewali kyuma kigukola
Ono ayogedde bino bwabadde kumukolo gwokugaba omusayi Ku Hotel African mulusiisira lw’ebyobulamu olwokugaba omusayi
Ngobya atendereza nabasiramu abewaayo ku Masjid Musa okuwawo zaaka nga sente zino ziyamba abayizi abasoma obusawo Ku University ezenjawulo
Era kumukolo guno Hajji akuutidde abayizi bano abamaze emisomo obutediima nga batuuse ku mirimu kuba bano basawo bagwanga kuba basomedde mu University eza gavumenti nga Mbalala , Busitema nendala.
Akiikiridde abayizi abasomedde Ku sente za zaaka Kisambira nga ono abadde muyizi Ku Gulu University akakasiza abasiraamu nti nga bbo abayizi beyama okukola enyo okuyamba abasiraamu era nebeyama okuwaayo zaka okusobola nabo okuyamba abayizi abatasobola kwesasulira bisale byakusoma
Bya Ali Ssewanyana