Supreme mufti wa Uganda Sheikh Shaban Muhammad Galabuzi alambudde etwale lya kampala, asiimye emirimu Pearl fm gyekola okumanyisa ensi yona.
Olunaku olwalero supreme mufti wa Uganda sheikh shaban Muhammad Galabuzi alambudde etwale lya Kampala nga ono yatandikidde ku Salam TV gyeyavudde nagenda ku gombolola ya masekati gekibuga nga eno ayanirizidwa meeya we ggombolola eyo Salim Uhuru n’omumyukawe Hajjat Hanifah ate bwavudde eyo ayolekedde ku Pearl fm nga wano ayanirizidwa general manager wa pearl Ssozi Muhammad Haroun.
Bwabadde ayogerako eri abawuliriza ba Pearl, supreme mufti asiimye radio Pearl olwokuwereza obusiraamu era nasaba abagagga okwongera okuwagira emirimu ejikolebwa Pearl fm nga baleeta ebirango ku radio eno .
Mungeri yemu agumizza abayizi abagenda ebigezo byabwe okutuula ebigezo byabwe ebyakamaliro obutetantala kukoppa kubanga ikino kiyinza okubavirako okusazamu ebigezo byabwe .Supreme mufti nga ayita kumayengo ga pearl akubirizza abasiraamu okukola ennyo wadde nga balina okusomozebwa kwa covid eyabayitamu naye nabagamba nti buli ayina kyasobola okukola akikole era ono asabye banna Uganda okwagalana nga bali mu mirimu .
Ate ye meeya wa masekati ga kampala Salim Uhuru ategezezza nti asanyuse nnyo olwa supreme mufti okubakyalirako era ne yeyama nga bwagenda okutambula naye mubuli nsonga yonna.
Supreme mufti bwavudde ku Pearl ayorekedde omuzikiti gwa masijidi haki ogusangibwa ku Lubaga road okwetaba mukusaala eswala ya juma nga eno ekulembedwamu Sheikh Ssemwanza Kimbowa nga ono akutidde abasiraamu obutaba ba sekibotte saako nokwewala okulya emaali yabamulekwa.
Wano supreme mufti wasinzidde nakubiriza abasiraamu okukuuma emizikiti gyabwe obutajitunda kubanga ekiseera kijja kutuuka nga abagagga abalina emizikiti kubizimbe nga babagobako .
Bya Mubiru Ali