Politics

Temusobola kusaba 59b kulondesa LCs.-Sipiika Among

Sir wa Palamenti Annet Anita Among ategeezezza nga bwekyetaaga okusala ku nsimbi akakiiko k’ebyokulonda zekaasaba obuwumbi 59 okuteekateeka okulonda ku mutendera ogwobukiiko bwe byalo ku LC esooka n’eyokubiri ngategeezezza nga zino bwezadumuulwa okuva ku nsimbi ezandisobose.

Kino kizze oluvannyuma lwa Palamenti olwaleero okulindirira sitatimenti okuva eri gavumenti kuwa wetuuse kuntekateeka y’okulonda obukiiko bwe byalo kyokka minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi David Bahati nategeeza nga bwekitasobose leero nga gavumenti yaakuleeta ekiwandiiko kuki ekibeera kiddako kukulonda kuno olunaku olwenkya ekijje ababaka mu mbeera nebatuuka nokusaba bwekiba kisoboka basooke baggale Palamenti okutuuka nga gavumenti eraze okulondebwa kwobukiiko bwe byalo lwekuliyo.

Oluvannyuma lwabino byonna omubadde na babaka okussa ku ninga ministry ye byensimbi lwaki ensimbi tezafulumizibwa mu budde nga nembalilira kyejje esomwe,Sipiika ategeezezza nga bwewaliwo okuduumula mu nsimbi za kalulu Kano okutuuka ku buwumbi 59 ezitayinza kubaweebwa kuba teziriiwo ku kalulu okusimaba obusimbi mugongo.

Ababaka okubadde Medard Lubega Ssegona owa Busiro east era nasoose nokulumiriza Minister wa semateeka neesiga eddamuzi Norbart moa okwebakira mu ntebe emyaka etaano negituuka okugwako awataali kuteekerateekera kulonda kuno nga wano Moa ategeezezza nga cabinet bwebadde ekyagitunulamu wabula ekyasaliddwawo Ssaabawolereza wa gavumenti waakukinyoyola Palamenti Olunaku olwenkya nga tayinza kwogera byebateekateeka kuleeta.

Bya Joweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *