Islamic

Sipiika wa palamenti Anita Amongo asabiddwa okuyingira mu nsonga z’ettaka ly’obusiramu erisangibwa e’Ekitante

spiika wa palamenti Annet Anita Amongo asabiddwa okuyingira mu nsonga z’ettaka ly’obusiramu erya kitante n’amalundiro mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo eryedizibwa ebitongole bya government omuli kcca nga lino lyona ettaka balyezza awatali kuliyirirwa

okusaba kuno kukoleddwa mufuti wa Uganda his eminence Dr shk Shaban Ramadan Mubajje bweyabadde akyaliddeko sipiika wa palamenti namutegeza nga ensonga z’ettaka n’amalundiro agenjawulo bwebazitwala dda ew’omukulembeze w’egwanga nabategeeza nga bwebalina okuliyirirwa ensimbi obuwumbi nsaanvu mu busatu(73bn) paka kati zebatafunanga.

shk mubajje era asabye spiika watekebwewo eteeka erirambika kubintu ebiriibwa nga ebisolo nga bisalibwa basiramu bokka olwokukizuula nti banji berimbika mukusala ebisolo nga beyita abasiramu nebalisa abantu enyama etatukiridde.

mubajje agenze mu maaso nayanja ensonga nyinji omuli obwetaavu bwokugulira ba district khadi emotoka,okutumbula ebyenjigiriza ,ebyobulamu nebirala era namwebaza okusosowazanga ensonga z’obusiramu omuli okuvujilira okulonda kwa basiramu , okunnyikiza enkola ya Islamic banking
nebirala.

Wano spiika Annet Anita Among yamusuubiza okusosowazanga ensonga z’obusiramu era neyebazza omukulebeze wegwanga Yoweri Kagutta museveni okuteeka nga kumwanjjo abasiramu mubiffo ebisava ebyenjawulo.
sb……

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *