Tetugenda kudda mu palamenti nga ensonga zaffe tezikoleddwako-L. O. P Mpuuga.
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga akyakalambidde ku ky’obutadda mu ntuula za palamenti oluvanyuma lwa sipiika okusazaamu olukiiko lwe babadde balina okubaayo nalwo okugonjoola ensonga yabwe eyabafulumya.
Yasinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku palamenti nakakasa nti wadde kati liweze ebbanga lya sabiiti 3 nga tebateeseza bantu babwe mu lukiiko lwe ggwanga olukulu, abantu be si bakulinnyayo okuggyako nga ekiwandiiko ekibamatizza kibaweereddwa.
Ku nsonga ya palamenti okuyisa eteeka lyamafuta webatali, yagambye kigezo ekigenda okuteeka ekibiina kya NRM ku minzaani okulaba oba esalawo mu bwenkanya ku lwa bannayuganda ne ggwanga okutwaliza awamu
Yakinogaanyiza nga ababaka be abatuula ku ka kiiko ka palamenti akalondoola enzonga z’obutonde bwe baabakiikiridde obulungi era nga bawakanyiza ekya UNOC okubeera nakyemalira mu kusuubuza eggwanga amafuta.
Okusinziira ku Christine Nakimwero Kaaya(mukazi/Kaaya)baazudde nga etteeka lya Petroleum Supply Act 2003 lye baagala okukolamu ennongoosereza era likkirizza UNOC okusuubuza amafuta amasundiro naye kye bawakanya kwe kuzibira abantu ne kampuni endala ezirina obusobozi
Nga basinziira mu kakiiko, endowooza eyo yo bagyiwakanyiza era n’ababaka okuva ku ludda lwa NRM ne babegattako.
Bya Namagembe Joweria