Tropical Bank esse omukago ne kampuni ya yinsuwa eya AAR.
Tropical Bank ekoze endagaano ne kampuni ya AAR Insurance okusembeza obujanjabi eri bannayuganda ku beeyi entono ddala.
Enteekateeka eno etuumiddwa “Tropical – Medical Insurance Plan ” era nga etongozedwa ku kitebe kya Tropical Bank wano mu Kampala.
Okusinziira ku akulira eby’okutereka ensimbi Yunus Babuwaire ategezeza nga bwebakwataganye ne Tropical Bank okusobola okutuusa obuwereza mu by’obulamu eri abantu ku beeyi ensaamusaamu.
Ye akulira emirimu gya “AAR Insurence” mu Uganda Christine Nasuuna asiimye enteekateeka eno era nategeeza nti yakuyamba nnyo abantu okufuna obujanjabi mubwangu.
Director wa Pearl Fm Engineer Rashid Bamuze asiimye enteekateeka eno nategeeza nga bbo abakozesa bwekigenda okubanguyiza okufunira abakozi babwe obujanjabi.
Omukolo guno gwetabidwako amakampuni agenjawulo okwetoloola Uganda.
Bya Tenywa Ismail