Politics

Esomero erya Jarah Islamic Junior ery’obusiramu erisoose liguddwawo-Nabbingo

Esomero lizimbiddwa ku mutendera ogwawaggulu era kumusinji ogwobusiramu nga liva ku Nursery okutuuka ku primary.

oplus_0

Mukuggulawo esomero lino abazadde basabiddwa okubeera abasaale okugamba kubaana baabwe nokubalondoola kubiki byebakola naddala kumikutu emikwanira wala, okusobola okugunjula abaana ab’obuvunanyizibwa munsi.

oplus_2

Okusaba kuno kukoleddwa Kopolo Sserugo Sam akulemberamu ebyokwerinda mukitundu ky’eNabbingo bwabadde kumukolo ogw’okulaga abantu b’omukitundu kino essomero ly’obusiramu erisookedde ddala erya Jarah Islamic Junior School.

oplus_0

Kopolo Sserugo era akubirizza abazadde abasomesa abaana ediini okubakubiriza n’okuyingira ebitongole ebikuuma ddembe olwokuba nabyo byetaaga abantu abasomye, ate nga ne ba Sheikh basobola okubiweereza obulungi.

oplus_2

Omutandisi w’essomero lino ery’obusiraamu erisoose mu Nabbingo-Kiyanja erya Jarah Junior School Hajj Yasiin Kawuma asabye abazadde obutanyooma masomero gabusiramu agatandikiddwa mubitundu byabwe nebasalawo okubatwala ewalala, nga kino kijja kubakosa jebujja nga tebakyalina busobozi bubasomesa diini.

oplus_0

Ono agamba kati namasomero g’obusiramu nago gali ku mutindo gw’ansi yona nga kino kyekibadde kibulamu era nasuubiza abazadde abagenda okutwala abaana ku Jarah Junior School okufuna obuwereza obuli kumutendera gw’ensi yona.

Oplus_131072

Abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno Sheikh Abdul Bast Butane akuutidde abantu okweyagaliza, okwejjamu ensaalwa nga byebimu kubigenda okubakulakulanya mukitundu nga kino essomero weritandise.

oplus_0

Mungeri yyeemu asabye abazadde okufaayo ennyo okusasula ebisale by’essomero olwo nabasomesa basasulwe nabaana bajja kufuna okusoma okulungi.

oplus_0

Omukolo guno gwetabidwako bannadiini, banabyabufuzi, abasuubuzi nabantu abalala okuva mubitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

oplus_0

Bya Ssali Nasif

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *