Tropical Bank eyongedde okusemberera omuntu wabulijjo.
Tropical Bank yegasse Ku ssomero lya Kitebi secondary school okubangula abayizi wamu nabawumuze muluwumula luno oluwanvu.
Bano basazewo okwegata Kukisaakate ekitegekeddwa essomero lya Kitebi nga abalala abavugiridde enteekateeka eno kuliko ‘Ministry of Health’ ne Kcca.
Bano wansi wenteekateeka yabwe eyokuddiza ku bantu (Corporate Social Responsibility) basazeewo betabe munteekateeka eno nabo babeereko kyebagatta ku muntu wabulijjo.
Okusinziira ku akulira ebyenfuna (Head Commercial Banking mu Tropical Bank) Yunus Babuwaire ategezeza nga bwebagala okulaba nga abayizi baganyulwa n’okubangulibwa mu bintu ebyenjawulo.
Ate Muhamad Kasirye Muyigwa ‘Relationship Manager Corporate mu Tropical bank’ agambye kumulundi guno basazewo okuzza banka eno kumuntu wabulijjo kubanga gw’emusingi kwebatambuliza.
Mubaraka Bisogoolo Manager wa E-Banking agambye bafunyiridde mukutuusa obuwereza kubantu obutalimu kukalubirizibwa, abantu basobole okwenyumiriza mumpereza ya banka ennungi.
Akuliddemu Kitebi secondary school Hajji Muhammad Kamulegeya ategezeza nga bwebasazewo okuteekateeka ekisakaate kino nekigendererwa eky’okubangula abayizi mukiseera kino ekyo luwummula.
Mungeri yemu ne minisitule eyebyobulamu wamu ne KCCA bagamba nti enteekateeka egenda kuyamba nnyo abaana kubanga omwana atendekeddwa asoboola okuwangala obulungi munsi.Ekisakaate kino kitandika nga 3-Dec-2023 okutuuka nga 16-Dec-2023.
Abaana abanetaba munteekateeka eno bagenda kubangulibwa mumirimu egyawaka nga okuwaata, okufumba,okwooza n’okulabirira ewaka wamu nemibiri gyabwe.
Mungeri yemu abaana bakuyigirizibwa okubeera n’empisa ez’omubantu.Ekisakaate kino kitegekeddwa mukiseera nga abaana tebakyalina mpisa era nga nabazadde tebakyalina budde kubangula baana.
Bya Tenywa Ismail