Politics

Wuuno mwana muwala awangulidde Uganda emidaali 3 egya zaabu

Sisinkana mwana muwala Benita Nalukenge S. 3 eyajojobezza ab’amawanga ga East Africa ne Africa mukukontana okw’okukubaganya ebirowoozo (debate) mululimi olufuutifuuti, nawangulira Uganda emidaali 3(esatu) eja zaabu
Benita Nalukenge muwala w’omukyala n’omwami Dorothy Kanihiro ne Mr. Godfrey Kibirige ababeera mu Wakiso district, nga asomera ku Seeta High Green Compus Mukono.

Ono ajaganya olwekkula lyeyatuseeko era ng’ekitone kino yakitandikira mu siniya esooka mussomero lino, era nga az’enga awangula emidaali okutuusa kuluno lwamezze abaana banne okuva mumasomero aga siniya agaavudde mu mawanga ga Africa.

  1. Ono yeyasiinze okuba nomuzinzi ate nga mumalirivu mu bakontanyi abaavudde mu Uganda ( Top Potential Junior Speaker)
  2. Yawangudde gold ogwomuyizi owokuna eyakize banna Uganda banne mukukubaganya ebirowoozo( Best Overall Uganda Speaker ).
  3. Era naafuna omudaali gwa zaabu ogwomwana omu kubasinze kulukalu lwa Africa owe 17. ( 17th Best Junior Speaker ).
  4. Empaka zino zayindidde muggwanga erya Kenya, era mwetabyemu amawanga ga Africa ne East Africa omuli Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi, South Africa, Zimbabwe ne Botswana ku ssetendekero owa United States International University – Africa mu ggwanga erya Kenya, nga zaategekeddwa aba African Debaters Academy.
  5. Benita yeebazizza nnyo bakadde be awamu n’abasomesabe olw’okumuteekateeka obulungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *