Aba Ibun Hamis Islamic ss Matugga Kigoogwa beerisizza nkuuli mu bigezo bya Idaad ne Thanawi
Ekitongole ekivunyizibwa ku bigezo eby’obusiraamu ebya Idaad ne Thanawi kyafulumiza eby’ava mubigezo bya s. 4 ne s. 6 eby’obusiraamu 2002 olunaku olw’eggulo ku yafeesi zaakyo e’Kawempe mu Kampala. Wano balaze okweyongera kw’amasomero agatuuza abayizi kumutendera guno nga wegeyongedde obunji.
Esomero lya Ibun Hamis Islamic gegamu kugasinze okwolesa omutindo omulungi era nga lyakutte kyakubiri mumasomero gona wano mu Uganda.
Wanji Abdallah nga ono muyizi ku somero lino y’omu kubasinze e’kumi mu Uganda banne bamusanyukiddeko nokumusitula mubbanga nga balaga essanyu.
Sheik Hamuza Kasirye amyuuka akulira esomero lya Ibun Hamis yebaziza Allah olwekkula lino lyebatuseeko nga nemubigezo bya PLE bakolera ddala bulungi wanu n’ebya UNEB ebya s4 ebyakafulumizibwa gyebuvuddeko. Asiimye nnyo enkola ya E- learning eyaleetebwa ku somero Director sheik Amir Katudde ne sheik Siraje Kasirye eyambye ennyo abayizi okola obulungi olw’abasomesa abakugu ababasomeseza kunkola eno. Asabye abazadde okusomesa abaana ebintu bibiri olwo babeere abesimiisa munsi muno.
Bya Ismail Kabangala Tenywa