Aba “Open Space” basisinkanye mu “Give for Good” eyokusatu.
Ekitongole Kyobwanakyewa eky’abavubuka ekya “Open Space Center” kitegese olukungaana lwabakulembeze kumitendera egyenjawulo okubaganya ebirowozo kungeri banna Uganda gyebayinza okwekulakulanya nga bayita mukuyambagana wamu nebitundu okuweebwa omwaganya kungeri gyebisobola okwekulakulanyamu nga byeyambisa ebyo ebibaliranye.
Mulukungana olumanyiddwa nga “Philanthropy Symposium 2023” olutegekeddwa ekitongole kyabavubuka ekya “Open Space Center” n’ekigendererwa ekyokufumintiriza n’okubaganya ebirowozo kungeri y’okuwayo kulwobulungi bwabalala“Give for Good”. Kino kirubiriddwamu okusomesa abakulembeze bano kubukulu bw’okuyamba abalala abatalina.Ensisinkano eno ebumbujidde ku Royal Suites e Bugolobi mu Kampala.
Hon. Kauma Saudah Alibawo omubaka omukyala owe Iganga era Amirah wa Palamenti yabadde omugenyi omukulu era mububaka bwe asabye abantu okuwayo n’okuyambagana nga tebatunulidde nti abagabirizi b’obuyambi n’abagagga bokka bebalina okuwayo. Agambye nti buvunanyizibwa bwabuli muntu okuyamba omulala atalina.
Wakib Bunya akulemberamu banne ku ‘Open Space’ asabye abakulembeze naddala ab’abavubuka okuteeka munkola ebibasomeseddwa nokukwata kumukono abawejjere nabo bafune embeera eyeyagaza.
Kakaire Ashiraf Sharaf omukwanaganya w’emirimu gyonna mukitongole kino annyonyodde nti enkola eno baajitandika n’ekigendererwa kyokwagazisa n’okuzimba omutiima oguyamba abalala. Bano era batongoza entekateka ey’okusiima abo bonna abewaddeyo okukyusa obulamu bwabalala n’ebitundu byabwe.
Enkola eyokuyamba kubalala yatongozebwa mu 2021 nga guno gwemulundi ogwokusatu nga etambuzibwa.
Olukungana luno luwagiddwa ekitongole Kya Uganda National NGO Forum.
Bya Ismail Tenywa