Politics

Abasoba 300 bafunye Zakkah okuva mu One Ummah Uganda

One Ummah Uganda Egabye Zakkah eri abantu abasoba mu 350 okwetoloola Uganda.

Minisita omubeezi ow’ebyettaka,amayumba nenkulakulana y’ebibuga era omubaka wa Bukono ‘county’ mu palamenti Omumbejja Hon. Persis Namuganza asiimye ekitingole kyobwanakyewa ekya One Ummah Uganda olw’omulimu gwekikola okuduukirira abantu abali mubwetavu.

Minisita Namuganza okwogera bino abadde omugenyi omukulu kumukolo ekitongole kya One Ummah Uganda kwekigabidde abantu abasoba mu 350 zakkah okwongera mu mirimu gyabwe nokumaliriza obwetavu bwabwe. Omukolo guno gubadde wali ku Uganda Muslim supreme council kukasozi Kampala mukadde.

Hon. Namuganza asiimye akulira one ummah Hajjat Shania Kigozi Nkangi wamu ne sheik Elias kigozi Nkangi olwokwerekereza byonna nebatuukiriza obuvunanyizibwa. Agambye nti gavumenti ya Uganda telina buzibu nabusiramu era bakusigale nga batambulira wamu nabwo mukukulakulanya bana Uganda.

Amyuka mufti wa Uganda asoka sheik Abdallah semambo Tamusuza asabye abasiramu okubera n’amazima mubuli kimu nasaba abasiramu okuwagira emirimu gya One Ummah kubanga ejunye nnyo abantu mubitundu byegwanga ebyenjawulo nga bayita mukugaba zakkah,okugaba emmere,okuzimba emizikiti n’amasomero.

Yye county director wa One Ummah Uganda Hajjat Shania Kigozi Nkangi asabye abagaga mu Uganda okunyiikira okutoola zakkah mumaali yabwe esobole okugasa abetaavu. Asiimye nnyo bakama babwe aba One Ummah Uk olw’eddimu lyebakola okuyamba bana Uganda ne Zakah wamu namawanga amalala. Asabye abawereddwa obuyambi buno okubukozesa mwebyo byebabusabira nabo basobole okukwata kubalala abetavu.

Abantu abawereddwa zakkah eno mubaddemu banamwandu,abakadde,abavubuka,abaliko obulemu,bamulekwa,abawalimu,abatali basiramu nabalala. Abantu bano bavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli Namutumba,Jinja,iganga,Hoima,Masindi,Kampala,Kamwenge,Wakiso newalala. Buli muntu awereddwa 1,125,000/=.

Omukolo guno gwetabiddwako ne district kahdi wa wakiso Mawulana sheik Elias Kigozi nga akubiriza abantu okunyiikira okola okusobola okufuna obugabirizi bw’ewaka.

Mubalala ababaddewo kwekuli amyuka ssabawandisi wa UMSC Ali Aluma,munabyanfuna Dr. Jamiru Ssebalu,Hajjat Mayimuna Abubaker okuva mu America, Sheik Imran Ssali akulira ensonga z’ediini ku UMSC nowa Hijja Sheik Ali Juma Shiwuyo.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *