Local

Ababaka Allan Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya balabiseeko mu Parliament olwaleero.

Ababaka ababiri okuli owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’owa Makindye West Allan Ssewanyana ettuntu lya Leero balabiseeko ku palament gyebabadde bamaze ebbanga kumpi lya myaka ebiri nga tebatuulamu , oluvannyuma lw’abano okuyimbulwa mu kkomera gyebuvuddeko gyebaali baggalirwa ku musango egyekuusa ku butemu.

Ababaka bano Allan Sewanyana ne Muhammad Ssegirinya ababadde balindiriddwa babaka bannaabwe okuva ku ludda oluwabula gavumenti, baaniriziddwa omubaka wa kalungu west Joseph Ssewungu Gonzaga kko nowa munisipaali ye Nansana Wakayima Musoke.

Bano olutuuse ku palament batwaliddwa bulamba mu yafeesi yomumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa era nesogga akafubo akatakiriziddwamu banamawulire.

Oluvannyuma bwabadde aggulawo olutuula lwo lwaleero amyuka sipiika Thomas Tayebwa ban abaanirizza okukomawo mu lukiiko olukulu olw’eggwanga okuva lwebayimbulwa mu komera gyebamaxe ebbanga eribadde likunuukiriza mu myaka ebiri.

Wabula Nampala wo ludda oluwabula gavumenti mu Palamenti John Baptist Nambeshe asabye Amyuka Sipiika bano abawe omwaganya babeeko kyeboogera mu palamenti olwenyonta abaabalonda gyebalina ,Amyuka Sipiika kyaganyi nabategeeza nti balina kuyita mitendera egiyitibwamu okubeera kubalina okuteesa.

Omubaka Muhammad Segirinya alaze okunyolwa olwa byonna ebibayiseeko nga Ababaka nga bagaliddwa wabula nategeeza nti baakutandikirawo okuteeseza abantu babwe olunaku olwenkya.

Ye omubaka Allan Sewanyana ategeezezza nga bwakyalumizibwa nasaba palamenti
emuyambe afune obujanjabi obusingako.

By Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *