Politics

ABABAKA BA NRM BAGENZE MU LUSIRIKA KYANKWANZI.OBUA ANYONYODDE EKIGENDERERWA

25/05/2023

Omukulebeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ngera ono ye ssentebe w’ekibiina kya NRM agenda kusisinkana ababaka ba palamenti ab’akabondo ka National Resistance Movement (NRM) e’Kyankwazi mu lusirika olugenda okumala ennaku kkumi nga lutandika ku Sunday eno n’ekigendererwa eky’okutema empenda engeri gye bayinza okukyuusa eby’enfuna bya bannayuganda ebigotaanye kko n’okulwanyisa ekizibu ky’enguzi .

Bwabadde ayanjulira bannamawulire entekateeka zino ku Palamenti olunaku olwaleero, Nampala wa gavumenti Hamson Denis Obua ategeezezza nti enteekateeka eno yakwefumiitiriza ku nsonga ezikuumidde bannayuganda mu bwavu,n’okwongera okukuba tooki mu nteekateeka za gavumenti zezze eteekawo okujja abantu mu bwavu mukawefube w’okulaba ng’ebigendererwa bya NRM bituukirira.

Obua agambye nti ne nsonga y’okumalawo ekizibu kye nguzi yakubeera ku mwanjo kyayogeddeko ng’ekiremesezza entekateeka za gavumenti okutuukirira.

Bwabuuziddwa oba waliwo ensonga endala eziyinza okwogerwako omuli ettemu, ensonga ya mabaati, ebbago ku bisiyaga n’ensonga endala,ono abyesambye ng’agamba nti kusaawa eno tasobola kumanya mukama waabwe Yoweri Museveni by’agenda kwogera naye nga ky’asuubira nti n’ensonga ezitambulirwako eby’obufuzi n’ebyenfuna ssi zaakubusibwa maaso.

Ye omwogezi w’akabondo ka NRM Brandon Kintu ayongedde okukunga ababaka ba NRM okujjumbira olusirika luno wabula natangaaza nti n’babaka abatali ba NRM basobola okubegattako.

Olusirika luno lw’akutandika nga ennaku z’omwezi 28 omwezi guno okutuukiira ddala nga 5 omwezi ogw’omukaaga nga bakutambulira ku mulamwa gw’okutumbula ebyenfuna mu buli maka, n’okumanyisibwa obuvunanyizibwa bw’omukulembeze obutuufu ng’enteekateeka eno yaakukulemberwamu ssentebe w’ekibiina kino ng’era ye mukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *